Tukwanirizza nnyo

Ssebo oba nnyabo tukusaba otulekere obubaka obutuwabula obutuzimba n'okutuwa amagezi. Weebale nnyo weebalire ddala.

Jun. 30, 2015

Gasyodo Mitala Erinayo

Bakaagwa mwebale ino olw'eitamba linu erikwata oku ntumu gyaiswe. OKibbumba abawe enkabi, era mweyongere omu maiso.

Dec. 25, 2014

Bugagga Mutale Ttendo

Bannange baagaliza amazaalibwa amalungi n'omwaka 2015 ogwe byengera.

Sep. 10, 2014

Ttendo

Ssaabalamuzi nga akakasa omulamwa gwa Wakulennume omukulu: ogw'okutumbula olulimi Oluganda mu maaso ga camera mu kutongoza Wakulennume, program emaze emyaka 6 nga ekulaakulanya olulimi ku WBS TV.

Sep. 10, 2014

Ttendo

Omuvvunkanyi nga awera mu maaso ga camera mu kutongoza Wakulennume nga beetegekera okwesogga e Bbanguliro, Studio za WBS TV.

Sep. 10, 2014

Ttendo

Abavvunkanyi nga Wakulennume atongozebwa mu Bbanguliro lya WBS TV

Sep. 10, 2014

Ttendo

Abavvunkanyi nga Wakulennume atongozebwa mu Bbanguliro lya WBS TV

Sep. 10, 2014

Ttendo

Abavvunkanyi nga Wakulennume atongozebwa mu Bbanguliro lya WBS TV

Sep. 10, 2014

Ttendo

Abavvunkanyi nga Wakulennume atongozebwa mu Bbanguliro lya WBS TV

Sep. 10, 2014

Ttendo

Mutyanno

Jul. 4, 2014

John Weeraga

Ne wano wendi nsaba mukyuseewo, byonna bidde mu lulimi Oluganda. Ndi musanyufu olw'omutimbagano guno. Nsaba twongere tugusalemu ebibanja, buli omu awe ekirowoozo kye okusinziira ku ky'alinamu obukugu. Omuwambi w'ekyalaani, makanika, omuyimbi oba omulimi
buli omu anoonye w'agwa. Tusseewo n'ekibanja ekikubaganya ebirowoozo ku lulimi- ggulaama waalwo, emisono mu mpandiika n'ebirala.

Jul. 3, 2014

Kato Kawuma

Bannaffe mbeebaza nnyo olw'okuzimba ennimi zaffe. Kino kikulu nnyo era ffe tulina okubeera ba 'nnyini mufu' okwagala n'okukulaanya Oluganda. Ng'enda kwongera okukunga bannange okuwagira omulimu guno

Jun. 2, 2014

Medadi Ssentanda

Bannaffe, mwebalege omulimu era temussa mukka na mukono ku nsonga eno enkulu gye muwomyemu omutwe.

May. 30, 2014

Mutale

Singa abantu nga Suzan Muwonge" Champion we mmotoka z'empaka mu Uganda" tubayita okwegatta ku ddimu lyokwagazisa abantu okwagala ennimi zaabwe ko ebiwandikibwa mu nnimi zaabwe, olulimi lugya ku tumbulwa.

May. 30, 2014

Mutale

Abaana singa tubatandiko nga bukyali okubaagazisa okusoma ebitabo, kisobola bulungi okuzimba omwoyo gw'okusoma ebiwandiiko.

May. 30, 2014

Mutale

Read Aloud day : mwalimu okugaba ebitabo,

May. 30, 2014

B.Mutale Ttendo

Omulimu simubi era entandikwa erina esuubi.

Kulikayo mu lukiiko.