WANDIISA OMUKOLO GWO

 

OKUKUZA WIIKI Y'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI

           GATONNYA (JANWALI) 24-30,  2023

 

 OMULAMWA: "Okweyambisa Ennimi za Afirika Okussaawo Enkola Ez'ensibo Ezigobera ddala Enjala, Okutumbula Ebyobuwangwa, Embeera z'abantu n'Ebyenfuna olwa Afirika Etweyagaza"

 OMUBALA:  Ennimi ze Twogera n'Emmere gye Tulya Bifuula Afirika Ey'amaanyi

 Wandiisa omukolo gwo wano  https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 Ebimu ku by'oyinza okukola mu wiiki y'Ennimi za Afirika ennansi 2023

 Ennimi za Afirika n'endiisa olw'okutumbula ebyenjigiriza

 -Okusomesa enfumba y'emnere erimu ebiriisa, empaka z'okufumba, -Ennimi ennansi n'emmere ennansi

-Okukunga amasomero abazadde n'abeebyenjigiriza ku ndya ennungi ey'abaana, obukulu n'entegeka y'ekyenkya

-Emisomo n'ebiwandiiko ku bukulu bw'ennimi za Afirika ennansi mu kumalirawo  ddala enjala n'okussaawo ebyenjigiriza ebiri ku mutindo

-Empaka z'okusoma bwino, ennyimba, emizannyo n'ebirala

Wandiisa omukolo gwo wano

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

Ennimi za Afirika ennansi n'okukunga abantu okulima emmere emala

-Kampeyini mu mikutu gy'amawulire, puloggulaamu, emboozi n'ebirango ku kuba n'emmere emala

-Olunaku lw'okusimba emiti gy'ebibala

-Emisomo n'okukubaganya ebirowoozo ku kukozesa emmere nga eddagala

-Ennyimba firimu emizannyo ebikubiriza abantu mu Afirika ku kulima emmere emala, endiisa, n'ebirala

 Wandiisa omukolo gwo wano

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

Ennimi za Afirika ennansi n'ebyenfuna ebyetooloolera ku mmere ennansi

-Okumanyisa abantu ku mpisa n'obulombolombo obwetooloolera ku mmere mu mawanga ga Afirika agatali gamu n'ekigendererwa ky'okugumiikirizagana n'okuwaŋŋana ekitiibwa mu bye tulya

-Emisomo, empaka, ennyimba, n'ebirala

 -Okutegeka emisomo n'ebijjulo by'emmere ennansi mu Afirika

 Wandiisa omukolo gwo wano 

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

 

 

 

 

 

Entegeka z’okujaguza wiiki y’ennimi ennansi mu Afirika zikwajja

Entegeka z’okujaguza wiiki y’ennimi ennansi eneebeerawo mu Gatonnya (Janwali) okuva nga 24 – 30 zigenda mu maaso era abakulembeze ab’ebiti byonna, ebibiina, ebitongole, ebitundu n’abantu bonna mu Afirika bakubirizibwa okukola entegeka okujaguza wiiki eno mu mawanga gonna agali mu mukago gwa Afirika nga bategeka emikolo egy’enjawulo   olw’okukuza ennimi zaabwe era bazikozese okulwanyisa enjala, okweggya mu bwavu wamu n’okwekulaakulanya. 

Akulira akakiiko akateesiteesi k’ebikujjuko bya wiiki y’ennimi ennansi mu Afirika, Margaret Nankinga yategeezezza nti wiiki eno ey’omwaka 2023 egenda kukuzibwa ku mulamwa ogugamba nti “African Languages for Sustainable Food Security, Cultural and Social-Economic Development for the Africa We Want” ekivvuunulwa nti “Okweyambisa Ennimi za Afirika Okussaawo Enkola ez’ensibo Ezigobera ddala Enjala, Okutumbula Ebyobuwangwa, Embeera z’abantu N’ebyenfuna olwa Afirika Etweyagaza”.

Wiiki y’ennimi ennansi yassibwawo akakiiko ka African Union ak’ennimi za Afirika  aka African Academy of Languages akakulemberwa Dr Dampha Fafa Lang ng’ekitebe kyako kiri Bamako, Mali, n’ekigendererwa ky’okutumbula ennimi ennansi n’okuzikozesa okutumbula enkulaakulana n’embeera z’abantu mu Afirika. 

Nankinga yategeezezza nti omubala okugenda okutambulira ebikujjuko gugamba  nti “ What we speak and What we Eat Makes Africa Great” ekivvuunulwa nti “Ennimi ze twogera n’Emmere gye tulya bifuula Afirika ey’amaanyi”  

Buli muntu wa ddembe okutegeka omukolo gwe ku mulamwa n’omubala ogwo waggulu.

Yakubirizza abantu okuwandiisa emikolo gye bategese ku mukutu ogunaabaweebwa ACALAN, basobole okumanyibwa n’okuyambibwa mu nteekateeka zaabwe. Emikolo gikyayinza okuba nga giri ku nnimi ennansi n’endiisa y’abaana olw’okutumbula ebyenjigiriza, ku nnimi ennansi n’okukumga abantu okulwanyisa enjala nga balima emmere emala, oba ku nnimi ennansi n’okutumbula ebyenfuna okuyita mu mmere ennansi. 

Basobola okutegeka ennyimba ezikunga abantu mu Afirika okulima emmere, emisomo ku nnimi n’ebyendiisa y’abaana, okutegeka empaka z’okusoma mu nnimi ennansi, okukunga abantu okulima emmere nga bayita mu mikutu gy’amawulire, okutegeka ebivvulu n’ebijjulo ku mulamwa ogwo n’ekigendererwa eky’okwagazisa abantu ennimi zaabwe, okujjumbira okulima emmere emala n’okwekulaakulanya oba emikolo egy’engeri endala yonna kasita giba nga gituukira ku mulamwa n’ebigendererwa bya wiiki. Emikolo gikyayinza okutegekwa n’ekigendererwa eky’okusomesa abantu, okubakunga okulima emmere n’okujjumbira endiisa ennungi, oba eky’okusonda n’okufunamu ssente okutumbula ennimi n’ebyobulimi, oba egy’engeri endala yonna ggwe nga bw’oba olabye.

Omu ku bakugu ba ACALAN ab’ennimi ennansi mu Afirika, Polof Marcel Diki Kidiri, munnakakiiko ka ACALAN ak’ekikugu akamanyiddwa nga  “Assembly of Academicians” yasabye abantu mu Afirika okutegeka emikolo n’emisomo eginaatumbula okusoma ebitabo ebiwandiike mu nnimi ennansi era n’okubyagazisa abantu. 

Akakiiko akateesiteesi aka wiki y’ennimi za Afirika ennansi kaliko bannakakiiko 25 okuli:

 

01

Mrs Margaret Nankinga

Uganda 

02

Dr Tiga Alain Ouedraogo

Burkina Faso

03

MrsNénéGuèye

Senegal

04

Mr John Rusimbi

Rwanda

05

M. Anicet ALLAMADJINGAYE

Mali

06

Monsieur BOUKHENOUFA Tahar

Algeria

07

Prof. Bouchra  Bouklata

Morocco

08

Mr Hamisi Babusa

Kenya

09

MrsWigdan Mekki

France

10

Rosyna Mapendo

D.R. Congo

11

MrsMmaserame David

Botswana

12

Dr Sibongile Masuku

South Africa

13

Mr Prince Cletus Ilobanafor

Nigeria

14

Ms Francina Nutifafa Feyi

Ghana

15

MrMamudou Trawally

Gambia

16

DrEyasu Hailu Tamene

Ethiopia

17

Mr Yaya Coami Achille

Benin

18

General Ishola Williams

Nigeria

19

Maurin Jonathan MOBASSI dit Djoson Philosophe

Rep of Congo

22

Mr Karamo Jammeh

Sweden

23

Prof. Anita Marie Diop

Detroit, Michigan USA

24

MrMijiyawaMekano

Togo

25

Dr June Bam Hutchinson

South Africa

 

 

AFRICAN LANGUAGES WEEK, JANUARY 24-30, 2023

REGISTER YOUR EVENT

Omwana muyigirize olulimi lwe

Abaana banyumirwa nnyo nga bazannyira mu nnimi zaabwe

ABANTU BUKADDE ABAMMIDDWA EDDEMBE LYABWE OKUSIGAZA N'OKUNYUMIRWA ENNIMI ZAABWE

‘MU nsi ya leero eringa ekyalo ekimu, obusobozi okwogera ennimi eziwera n’owuliziganya n’abantu aboogera ennimi ez’enjawulo bukugu obwetaagisa buli muntu. N’okumanyaako ekitono ku nnimi ezisukka mu lumu kiyamba.

Okumanya ennimi endala bwe buyigirize obupya obuliwo mu nsi kati. Okuyiga ennimi kwetaaga okugaziyizibwa eri bonna- abakulu n’abato. Kyokka, abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna abammiddwa eddembe lyabwe okusigaza, okunyumirwa n’okukulaakulanya ennimi zaabwe enzaaliranwa era ezibagattira awamu.” (https://www.salzburgglobal.org/fileadmin/user_upload/Documents/2010-2019/2017/Session_586/SalzburgGlobal_Statement_586_-_Multilingual_World__combined_.pdf

Leero nga tujaguza wiki y’Ennimi Enfirika, ebiri mu kiwandiiko ekyo waggulu, ebyafulumizibwa bannannimi mu Salzburg, eby’abantu okummibwa eddembe lyabwe okusigaza, okunyumirwa, n’okukulaakulanya  ennimi zaabwe enzaaliranwa bikyagenda mu maaso.  Abakola kino bantu ba buyinza era ba buvunaanyizibwa nga n’ebintu ebikulu biri bibiri bye batera okwerimbikamu nga bakola kino:

(1) Okugatta abantu olwo ne bagamba nti buli muntu bw’anaweebwa ebbeetu okwogera olulimi lwe n’okulukulaakulanya kijja kutema mu bantu.

(2) Omugaso gw’ennimi zino bangi tebagulaba nga batuuka n’okubuuza nti , zigenda kukuteera mmere ku ssowaani yo?  Kye baba bategeeza nti zirina mugaso ki mu nfuna yo?

Olwaleero  kanziremu abalina endowooza zino zombi:

(1) Okugatta abantu okuyita mu nnimi ezitegeerwa abantu abangi

Kino kikulu nnyo  mu nsi gye tubeeramu ennaku zino nti buli muntu yeetaaga  munne era bw’oba oyagala okuwuliziganya n’abantu abawerako weetaaga ennimi mugattabantu nga zino ziri ku mitendera egy’enjawulo. Waliwo ezitugatta ku kyalo, mu kitundu ekineneko nga  essaza, disitulikiti, nga eggwanga ate n’ezigatta  eggwanga nga Uganda ku mawanga  amalala n’ensi yonna okutwalira awamu.  Mu biti ebyo byonna bye mmenye, ennimi ezitugatta nkulu ddala. Omuntu mu buntu bwe amanya ddi lw’alina okukozesa lulimi ki era ng’ayogera eri baani. Kino tekimuggyaako ddembe lye kwogera lulimi lwe ne bantu banne abalutegeera era n’okuluyitamu okwefumiitiriza ku bimuzimba n’okumutwala mu maaso. Tekitegeeza nti bw’anaayiga n’akulaakulanya olulimi lwe ng’endala azivaako, nedda. Mu kuyiga olulimi lwe amanya obukulu bw’ennimi mu mpuliziganya era afuba okuyiga zonna z’asobola era n’okuzoogerera we zeetaagisiza kubanga kimuwa n’omukisa okuzigeraageranya  n’olulwe.

Abanoonyereza baakizuula nti omuntu bw'ayiga olulimi lwe lumuyamba okuyiga ennimi endala nnyingi.

(2) Zisobola okussa emmere ku ssowaani yo?/ Ziyinza okukuyamba mu byenfuna?

Ababuuza ekibuuzo kino beerabira obukulu bw’ennimi enzaaliranwa  mu kuyiga kw’omuntu n’okumuyamba okufumiitiriza.

Abanoonyereza bazze bakyogera lunye nti omwana ayize obulungi olulimi lwe w’atuukira okugenda mu ssomero, ayanguyirwa nnyo okusoma bwino n’okuwandiika, ekitegeeza nti  olulimi lwo lukuyamba okuyiga okusoma bwino n’okuwandiika ebikuyamba ennyo mu bukugu bwonna bwe weetaaga  okunyweza ebyenfuna n’ennyingiza  ne bw’oba oli mulimi oba mukugu mu byamateeka oba munnabyabufuzi.

Mu Luganda tugamba nti okumanya n’okutegeera biba byawufu ate tulina okufumiitiriza, okwefumiitiriza. Olulimi lw’omuntu lwogerwako nga etterekero ly’ebyobuwangwa bwe ate ebyobuwangwa bizimbirwa ku bintu ebitwetoolodde  nga bano be bantu bannaffe n’obutonde bw’ensi. Bwe tubyekenneenya okumala ebbanga era ne tubitegeera obulungi olwo ne tubizimbako empisa, obulombolombo n’oluganda nga bino byonna bye bikola kye tuyita ebyobuwangwa. Ebyenfuna  nabyo obizimbira ku bikwetoolodde ng’olaba bw’oyinza okubikozesa okukugasa ng’obiggyamu ekyokulya, ensimbi n’obuwummuliro. Ky’ova olaba nti ennimi zaffe  eziterese ebyobuwangwa byaffe  ebitunnyonnyola obutonde obutwetoolodde ne bwe tuyinza okubukozesa, bwe tuzisuula ettale nga n’ekyokulya n’ebyenfuna tubyerabira. Ky’ova olaba nti leero tulowooza nti obugagga buli Bulaaya kubanga  ebitunnyonnyola obugagga obutwetoolodde ne bwe tuyinza okubukozesa biri mu buwangwa bwaffe naye tetubitegeera kubanga ennimi ezibinnyonnyola ezaffe enzaaliranwa nazo tetuzitegeera. Wano we tuva okulowooza nti ennimi engwira ze zokka ezisobola okutussizza emmere ku masowaani ne tulya (okutuwa ebyobugagga) kubanga tulowooza nti tutegeera  nnyo ebyobuwagwa n’obutonde obuli mu nsi engwira nga Bungereza Amerika kati ne China okusinga  obwaffe mu bitundu mwe tuli.

Bnnaffe kye bava tebatawaana naffe ne bajja ne batuggyako  obugagga bwe tulaba bulijjo kyokka nga tetubumanyi ne babutwala ewaabwe ne babufuuwako enfuufu olwo ne babukomyawo nga eddagala, emmere, ebyokulya n’okunywa olwo ne tuyaayaana nnyo nga tulowooza obugagga buli waabwe kyokka nga tubulese wano ewaffe.

Ennimi ezitugatta era ezitegeerwa abantu abangi nkulu nnyo era tuziyige wonna we tuzisanga naye ekinaatuggya mu bwavu era kye tunaatwala ku katale k’ensi yonna okukitunda eri  ensi ezo endala nga tweyambisa ennimi zaabwe ze tuyize obulungi era ze tufuuuwa obufuuyi kiri mu butonde obutwetoolodde mu buwangwa bwaffe nga kiterekeddwa mu nnimi zaffe.

Mbaagaliza weeiki y’Ennimi Enfirika ey’essanyu.

(Margaret Nankinga).

OBULAMU BW'OMUKAZI AWAMU N'AKALEESU

JOYCE N. TOMUSANGE

 

EKITONTOME 

Mu bulamu bwange nze njagala akaleesu.

Bwe nzuukuka ku makya ,

Nga nneesuulako akaleesu,  nnyingire ekinaabiro  .

Bwe mmala okunaaba nneesuulako   akaleesu .

Okugenda okuzuukusa abaana nneesulako akaleesu. 

Bwe mbeera mu ffumbiro era nga nnina akaleesu.

Okwewonya evvu n'enfuufu  omutwe nguzingako kaleesu.

 

Bwe mba ku kibi era sireka kaleesu.

Okwekuuma mu nsonga z'abakazi mbeera n'akaleesu.

Abazadde b'abaana baweekesa obuleesu. 

Mu kujoogebwa okunji obeera n'akaleesu.

Omusajja bw'akuvuma okaabira mu leesu.

By'oyasimula ennyo ennyo okozesa kaleesu.

Eminyira n'amaziga obisanguza kaleesu.

 

Abafumbi mu mikolo babeera n'obulesu. 

Mu malwaliro abakazi bagenda n'obuleesu.

Abasaala bonna nno baba n'obuleesu.

Gendako e Bbombo wano olabe obuleesu!

Abasaabaze abakazi beesuulako obuleesu ,

Ne batasunwa byuma  ne bisuna buleesu.

Wadde nga waliyo bingi ebikozesebwa leesu,  

ku luno kankome kw'ebyo ,

Ate ndidda n'ebibi ebingi bye bakozesa leesu

 

 

 

 

Add headline

I'm a paragraph. Click here to add your own text and edit me. I'm a great place for you to tell your story and let your visitors know a little more about you.

Omwana bw'ayigira mu lulimi lwe kimuwa essanyu