TUTEREEZE ENJOGERA Y'OLULIMI LWAFFE OLUGANDA

Polof. Dan D. Ntanda Nsereko

Mu bbanga ttono eryakayita waliwo enjogera ezisenseredde olulimi lwaffe Oluganda, kyokka nga nkyamu era nga ziwaawaaza amatu. Enjogera zino tuyinza okuzigeraageranya n'akawuka kannamuginga akalumba era ne kasenkenya omuti empolampola kimomozo ate nga ku mbiro; ogenda okwejjuukiriza nga omuti gusigadde kiwowongole. Enjogera zino tuteekwa kuzirwanyisa n'amaanyi, sinakindi nga olulimi lwaffe lusaanawo. Nga jjajjaffe M.B. Nsimbi bwe yawanjaga mu 1950 (Olulimi Oluganda), "tusaanidde okutakabanira Olulimi lwaboffe Oluganda luleme kufaafaagana n'okubula kagenderere, so nga Abaganda bannannyinirwo bakyaliwo."Wano ndaga ezimu ku njogera ezo enkyamu awamu n'ezo ze nkakasa okuba entuufu.

1.Enjogera enkyamu                                     Enjogera entuufu

njagala lya mmere                                            njagala kulya mmere

njagala ggenda Kampala                                      njagala kugenda Kampala

njagala ssoma kitabo                                          njagala kusoma kitabo

njagala yiga                                                     njagala kuyiga

2. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

nze ali mu kiyungu                                          nze ndi mu kiyungu

nze eyabadde avuga                                        nze nabadde nvuga

nze amwagala                                                  nze mmwagala

nze ayimba                                                      nze nnyimba

ffe abayimba                                                   ffe tuyimba    

ffe abaasinze                                                   ffe twasinze

si ffe abasokoolamu ebintu                             si ffe tusokoolamu ebintu

ggwe eyatutte ensimbi zange                          ggwe watutte ensimbi zange

ggwe nze ayagala                                            ggwe njagala

mmwe abaleese emiti                                      mmwe muleese emiti

ye eyaleese emiti                                             ye yaleese emiti

be abaleese emiti                                             be baleese emiti

 

3. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

ndi mu kugenda Kampala                               ηηenda Kampala

tuli mu kusoma bitabo                                     tusoma bitabo

bali mu kutuula                                               batudde

tuli mu kuzuukuka                                          tuzuukuse

abo abali mu kubba ebikajjo byange               abo ababba ebikajjo byange

ensigo eziri mu kutundibwa mbi                     ensigo ezitundibwa mbi

 

4. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

waliwo kye sitategedde                                  waliwo kye sitegedde

 

5. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

miriyooni                                                         kakadde

biriyooni                                                          kawumbi        

katabalika (tuliriyooni)                                    kasedde

katabalika (tuliriyooni olukumi)                      kafukunya

 

6. Enjogera enkyamu                                                enjogera entuufu

ensongalwaki   nzize                                        ekindeese, ensonga endeese oba kyenvudde nzija

mmanyisa olunaku ddi lw'olijja                      mmanyisa olunaku lw'olijja

mmanyisa ekifo  wa gy'ogenda                      mmanyisa ekifo gy'ogenda

mmanyisa omuntu ani gw'oyagala                  mmanyisa omuntu gw'oyagala

mmanyisa ensonga ki ekuleese                        mmanyisa ensonga ekuleese

mmanyisa langi ki gy'oyagala             mmanyisa erangi gy'oyagala  

yiga engeri ki ey'okulima katunguluccumu      yiga ennnima ya katunguluccumu

simanyikiki ekinaabaawo                                 simanyi kinaabaawo

omuwendo gw'ente mmeka eziriwo               omuwendo gw'ente eziriwo

7. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

mukwano wange                                             mukwano gwange

mikwano bange                                               mikwano gyange

mukwano wo                                                  mukwano gwo

mikwano bo                                                    mikwano gyo

bakwano bange                                               mikwano gyange

bakwano bo                                                     mikwano gyo

bakwano bammwe                                          mikwano gyammwe

bakwano baabwe                                            mikwano gyabwe

mikwano bammwe                                          mikwano gyammwe

mikwano be                                                     mikwano gye

abeηηanda bange                                           abooluganda

abeηηanda baffe                                            abooluganda

abeηηanda bammwe                                      abeηηanda zammwe

abeηηanda baabwe                                        abeηηanda zaabwe

 

8. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

maama wange                                                 maama, nnyabo oba mmange

maama waffe                                                  nnyaffe

taata wange                                                     taata oba kitange

taata waffe                                                      taata oba kitaffe

ssenga wange                                                  ssenga oba sseηηange

bassenga baffe                                                 bassenga oba bassengaffe

kojja wange                                                     kojja oba kojjange

jjajja wange                                                     jjajja oba jjajjange

jjajja waffe                                                      jjajjaffe

mwannyina wange                                          mwannyinaze

mwannyina waffe                                           mwannyinaffe

mwannyina wo                                                mwannyoko

mwannyina wammwe                                     mwannyinammwe

mwannyina waabwe                                       mwannyinaabwe

bba wange                                                       baze

bbaawo                                                            balo

bbaawe                                                            bba

babba baabwe                                                 babbaabwe

 

9. Enjogera enkyamu                                    Enjogera entuufu

Mwami Ssaalongo                                           Ssaalongo

Mukyala Nnaalongo                                        Nnaalongo

Mwami Mulangira                                           Mulangira

bampita Nsereko                                             nze Nsereko

 

10.Enjogera enkyamu                                   Enjogera entuufu

zibbanka                                                          bbanka

zibbaasi ssatu                                                   bbaasi ssatu

ziroole                                                             loole

zikampuni                                                        kampuni oba amakampuni

zimmotoka                                                      mmotoka

zibulangiti                                                       bulangiti

zidisitulikitisi zonna                                        disitulikiti zonna

ziyunivaasite zaffe                                          yunivaasite zaffe

zikkomitiizi                                                     obukiiko

ziwoofiisi                                                        ofiisi

 

11.Enjogera enkyamu                                               Enjogera entuufu

yagenze  Mulago okubeera nga ajjanjabwa                 yagenze  Mulago kujjanjabwa

bazze babeere nga bayiga Oluganda                           bazze kuyiga Luganda

mujje mubeere nga mutendekebwa okuyimba      mujje mutendekebwe okuyimba

bajja kubeera nga bakomawo ku ssaawa bbiri bajja kukomawo ku ssaawa bbiri

tuli mu kubeera nga tulina amafuta                             tulina amafuta

yasoboddde okubeera nga abeegattako                       yasobodde okubeegattako

yinsuwa eyamba ababa babeera bafunye ebizibu       yinsuwa eyamba ababa bafunye ebizibu

yitayo osobole okubeera ng'omanya ebisingawo        yitayo omanye ebisingawo

jjangu osobole okubeera nga oyiga                              jjangu oyige

mwebale okubeera nga mutuwuliriza                          mwebale kutuwuliriza

tagenda kubeera nga abeerawo                                    tajja kubaawo

agenda kuba/kubeera nga abeerawo                            ajja kubeerawo

enkalala z'abalonzi tezinnaba kubeera nga zifuluma  enkalala z'abalonzi tezinnafuluma

 

12. Enjogera enkyamu                                              Enjogera entuufu

nnyina                                                                         nnina

tuyina                                                                          tulina

oyina                                                                           olina

muyina                                                                                    mulina

bayina                                                                          balina

enju eya kayina                                                           enju eya kalina

 

13.Enjogera enkyamu                                               enjogera entuufu

ekizibubaakigonjodde na kulonda (vote)                    ekizibu baakigonjodde  na kukuba kalulu    

omubaka oyo tayogera, alonda bulonzi                      omubaka oyo tayogera, akuba bukubi kalulu

ggwe ojja okusisinkana ebisale by'obwetissi              ggwe ojja okusasula ebisale by'obwetissi

batunda kamukamu n'okusuubuza                             batunda lejjalejja ne kolijja

atwaliddwamu kkooti avunaanyizibwe                      atwaliddwa mu kkooti avunaanibwe

omuwababi                                                                  omuwaabi

omuwaabirwa                                                              omuwawaabirwa

ssaabawababi wa gavumenti                                       ssaabawaabi wa gavumenti

abalamuzi b'omupiira                                                  ddiifiri, abafuuyi, oba abasazi

 

 

14. Kompyuta

Ekigambo "kompyuta" kyagandawazibwa kuva mu kigambo ky'Olungereza "computer."Kyokka aboogezi b'Oluganda abamu bakiyita ekyuma kikalimagezi, nga balowooza nti olwo bazimba Luganda. N'obuwombeefu, nze ndaba nti bakyamu. Ekyuma obuuma tekisobola kuba na magezi, kubanga tekirowooza era tekiyiiya. Omuntu eyakiyiiya awamu  n'oyo ayiiya pulogulaamu z'akiteekamu be basaanye okuyitibwa "bakalimagezi." Ekyuma kikola bukozi ekyo nnannyinikyoky'akiragira okukola,okusinziira ku pulogulaamu gy'akiteekamu. Kyova owulira enjogera eno nti "gasiya ayingira, ye gasiya afuluma."Tewali kuwannaanya nga kompyuta kyuma kya mugaso nnyo. Ebintu ebimu omuntu by'akola nga yeeyambisa kompyuta, ddala byewuunyisa: gamba nga okuddaabiriza ekizungirizi nga kiri ewala eyo mu bwengula.Yii, wamma omuntu Katonda yamuwa amagezi!Nolwekyo nkubira nga ηηamba nti ekyuma kino okukiyita kompyuta kimala. Kyangu okwatula mu Luganda; era kyangu okuwandiika.Kye kimu ku bigambo ebigwira, gamba nga "blanket" (bulangiti )ne "bus" (bbaasi) ebituufu okugandawaza.

 

15. Ekigambo "nkomeredde"

Mu ggulaama y'Oluganda, ekigambo "nkomeredde" kyandibadde nnakongezakikolwa.Kitegeeza nkalakkalira oba lubeerera oba kiseera kyonna. Labira ku lugero lw'Abaganda luno nti:

"Nkomeredde, nga Lubaale wa Nabuzaana."

Anti Lubaale Nabuzaana bwe yatembanga omuntu ku mutwe nga tamuvaako.Kino abakyala Abaganda baakiyaayaaniranga nnyo, kibasobozesenga okwekuukuulubyanga mu bisaakaate by'abaami ekiseera kyonna nga bwe baagala.Eby'embi, Nabuzaana teyabakwatanga. Ku kino kwe kwava olugero olulala nti:

"Ky'oyagala tekijja gy'oli, Nabuzaana akwata Banyoro."

Ekyokulabirako ekirala eky'enkozesa y'ekigambo kino entuufu yiino: Michael B, Nsimbi mu kitabo kye Olulimi Oluganda(1950), bwe yali annyonnyola amakulu g'enjogera "nnaasula bbiri Kkungu Buyoozi" yawandiika n'agamba bw'ati:

"Ebigambo ebyo bigambibwa omuntu agenderera okumala ennaku entono mu kifo, [kyokka] n'akirwamu oba n'akituuliramu ddala enkomeredde."

Amakulu gano era gakakasibwa ne John D. Murphy (nga ayambibwako Fr. Clement Kiggundu, Rmigius Kintu, Rebacca Kiziri, Younus Mpagi, Harriet R. Mukasa ne Br. Tarcisius Nsobya) mu Luganda- English Dictionary (1972). Ekigambo bakikyusa mu Lungereza nga eternal oba perpetual.Ekyokulabirako, essanyu ery'enkomeredde.

Ebyembi, abantu bangi mu nsangi zino, naddala bannamawulire, ekigambo "nkomeredde" bakikozesa nga nnakongezalinnya etegeeza eky'enkomerero oba eky'oku ntikko.Ekyokulabirako:Bukedde owa 27 Novemba 2012 yawandiika nti:

"Ebbago [ku mafuta] singa liyisibwa nga bwe liri mu kaseera kano libeera liwa minisita obuyinza obw'enkomeredde okuwa kkampuni z'amafuta olukusa..."

Obubaka Bukedde bwe yali ayagala abasomi be bafune bwandiwandiikiddwa bwe buti:

"Ebbago[ku mafuta] singa liyisibwa nga bwe liri mu kaseera kano,lijjakuwa minisita obuyinza obw'enkomerero oba obw'oku ntikko oba obutakubwako mukono okuwa kkampuni z'amafuta olusa ..."

Ekyokulabirako ekirala kisangibwa mu kitabo kya Charles Peter Mayiga, Buganda ku Ntikko (2013):

"Embuga z'abakulu b'ebika zaali tezikyalina buyinza bwa nkomeredde mu kulamula abazzukulu."

Empandiika entuufu yandibadde bw'eti:

"Embuga z'abakulu b'ebika zaali tezikyalina buyinza bwa nkomerero oba obw'oku ntikkoobaobutakubwako mukonomu kulamula abazzukulu."

Ka nsuubire nti okutangaaza kuno kunaasobozesa aboogezi n'abawandiisi b'Oluganda okukozesa ekigambo kino mu ngeri entuufu.

 

16. Ekigambo "kawaayiro" n'ebigambo ebirala ebyekuusa ku mateeka

Aboogezi abamu bwe baba bajuliza Ssemateeka n'amateeka amalala batera nnyo okukozesa ekigambo "kawaayiro."Mu kulaba kwange, ekigambo ekyo bakikozesa mu bukyamu.Bwe kiba kikozesebbwa mu makulu g'akyo amatuufu, ekigambo "kawaayiro" kitegeeza ekitundu ekiwaayire, ekiyunge oba ekikookere ku nkomerero y'etteeka.Anti "okuwaayira" kitegeeza kuyunga oba kukookera.  Ebiseera ebisinga obungi ekigambo ekituufu aboogezi abo kye baba bategeeza ye "nnyingo" ("article mu Ssemateeka)oba "katundu"("section"mu tteeka eddala).

Enjogera entuufu ey'ebigambo ebitera okujulizibwa mu mboozi ezeekuusa ku mateeka ne ku gavumenti yandibadde bw'eti:

Constitution - Ssemateeka oba Konsitityusoni;

Act oba statute - tteeka (gamba Penal Code Act - Etteeka ly'Ebibonerezo);

byelaws, regulations, oba rules -  buteeka;

chapter - ssuula;

article - nnyingo;

section - katundu;

subsection- katundu ka katundu;

paragraph- palagulaafu;

schedule - sedule;

annex oba appendix - kawaayiro;

proviso - oba conditionkakwakkulizo;

provision - katundu konna mu tteeka;

Supreme Court- Kkooti y'oku Ntikko;

Constitutional Court - Kkooti Etaputa Ssemateeka oba Kkooti ya Ssemateeka

Court of Appeal - Kkooti Ejulirwamu;

High Court - Kkooti  Enkulu;

Magistrate's Court - Kkooti Ento;

International Court of Justice - Kkooti y'Ensi Yonna;

International Criminal Court - Kooti y'Ebibonerezo ey'Ensi Yonna;

summons- semaanisi

bail- kweyimirirwa

warrant of arrest - waalanta.

exhibit - kizibiti

federal - federo;

federetion - federesoni;

unitary - kipooli;

kingdom - bwakabaka;

republic - kyetwala;

central government - gavumenti eya wakati;

local government - gavumenti ez'ebitundu.

 

17. Okujoboja

Okujobojagwe muze gw'okwogera Oluganda nga otabiikirizaamu ennimi endala.Omuze guno gusinga kuba mu abo abeeyita abayigirize oba abasomyeko ku nnimi engwira, naddala Olungereza.Kino tukiwulira lunye ku mikutu gya leediyo ne ttivvi.Enjogera eno ewaawaaza nnyo amatu.N'okutamya etamya nnyo ebiba byogerwa, kubanga birumira, wozzi nga ettaka mu nswa.Kiweebuula era ne kijungulula olulimi Oluganda.Abatabiikiriza Olungereza mu Luganda bakikola lwa nsonga nnyingi. Ezimu ku zo ze zino: kulaga nga bwe bamanyi ku Lungereza;buteekakasa ku bye baba boogera; butasooka kufumiitiriza na kusengeka nsonga ze baba bagenda okwogerako;okulowooza nti  Oluganda lwa wansi,lwavu mu bigambo era mbu lwo lwokka terumala kwogererwamu birowoozo bya magezi. Naye ndowooza ensonga esinga okuvaako okujoboja kya Baganda butaba bannyikivu mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa, butafaayo kulukaza, butamanya bukulu bwalwo, bulagajjavu na buteefuga. Nkakasa nti singa tussaayo omwoyo,ne tumalirira era ne twekakaba, tusobola okunyumya emboozi empanvu nga tetutabiikirizzaamu Lungereza.

Ku nsonga eno neekola nnyo bannabyabufuzi n'abakungu ba gavumenti abalala abatali bamu abatali Baganda, be ntera okuwulira ku mikutu gya leediyo ne ttivvi, abafuba ennyo okwogera Oluganda nga tebalutabiseemu nnimi ndala. Emboozi zaabwe ziba mpoomu, teziwaawaaza matu, era nga nnyanguokutegeera.Abakulu abo bawa olulimi lwaffe ekitiibwa.Siraba kirobera bannaabwe Abaganda, bannannyini lulimi,nabo okwekakaba ne boogera Oluganda olusengejje nga bo.Wano era sirema buteebaza abateesiteesi era abakubiriza ba pulogulaamu ku leediyo ne ttivvi ezimu abafuba okuwabula abagenyi baabwe abazoogereramu okwekomako bwe baba batandiikiriza okujoboja.Bannange, temuggyanga okwo.

 

18. Oluganda lusobola okwetengerera

Aboogezi bangi batera okuwagika ebigambo by'Olungereza ku by'Oluganda.Ebyokulabirako bye nawulira ku leediyo ezimu:

(i)                 Enkuηηaana z'ensiisira, ziyite zicampmeetings, zaawedde bulungi.

(ii)               Buli ntebe yagula ddola za Amerika enkumi ttaano, five thousand United States dollars.

(iii)             Olukusense, Abazungu lwe bayita measles, lukyase nnyo mu nsangi zino.

(iv)             Enswaswa, Abazungu gye bayita monitor lizard, ewangaala emyaka munaana.

(v)               Basabye gavumenti esseewo akakiiko akabuuliriza, oba mu lufuutifuuti, commission of inquiry, keekenneenye ensonga eno.

Naye ddala muganyulo ki oguli mu kuwagika ebigambo by'Oluzungu ebyo ku by'Oluganda mu sentensi zino?Tewali.Omuze gw'okuwagika ebigambo ebyo ku Luganda gufeebya n'okukonzibya ne gukonzibya Oluganda; teguluganya kusajjakulana kwetengerera lwokka. Gwoleka buteekakasa nakwesibira mu buddu bwa birowoozo obw'enkomeredde obutuwalula okulabira buli kantu okuyita mu ndabiso z'Abazungu. Okuwagika ebigambo ebigwira okw'engeri eno kusaanye kukome, okuggyako mpozzi ngaomwogezi ajuliza bigambo bya saayansi ebitannayingira na kugundiirira mu Luganda.

19. Omulanga

Emyaka nga 65 egiyiseewo M.B. Nsimbi yayolekanga olulimi Oluganda bwe lwali lugenda lubuutikirwa n'okufeebezebwa ennimi endala ezaali zoogerwa mu Bugannda mu kiseera ekyo.Yalagula nti "emyaka ng'ataano okugenda okuyitawo, waliba tewakyali Baganda aboogera Oluganda lwennyini." Yawanjaga n'agamba nti:

"Kino kye kiseeraeky'okuziyiza akabi akasemberedde olulimi Oluganda.Omulimu gw'okuziyiza akabi ako gwa Baganda bennyini. Enjogera y'olulimi Oluganda entuufu, Abaganda tebeetaaga kugiyigirizibwa bantu ba mawanga malala, kuba yo bagiyonka mu mabeere."

Kirabika nga jjajjaffe oyo bye yalagula bigenda bituukirira.Okulaajana kweAbaganda tukusudde muguluka.Anti buli lukya enjogera y'Oluganda egenda yeeyongera kudobonkana.Wulira Pawulo Kafeero bw'awanjaga mu luyimba lwe, Olulimi Lwange, nti:

"Nvuga livansi, oba ηηenda mu maaso?

Olulimi lwange okudobonkananga luti.

Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa.

Ffe kennyini nga tulufudde ekidiba omuwugwa"!

 

Kitalo! Kale nno nange nkuba omulanga eri abazadde mu maka, abasomesa mu masomero, bakabona mu masinzizo, n'abakulembeze ab'emitendera gyonna egy'enjawulo,babe basaale mu kutaasa Oluganda.Basaanye babe kyakulabirako ekirungi mu njogera y'Oluganda entuufu, era eruweesa ekitiibwa.Bwe bataakikole, Oluganda lusaanawo.Ate nga olulimi lye ggwanga.N'ekirala, nkizudde nga emikutu gya leediyo ne ttivvi nagyo gikola kinene mu kuyigiriza oba mu kuwabya abawuliriza baagyo ku njogera y'Oluganda.Noolwekyo, nsaba abateesiteesi ba pulogulaamu ku mikutu egyo bassennyo omulaka ku njogera y'Oluganda entuufu era ey'omutindo. Aboogezi be bayita okwetaba mu pulogulaamu zaabwe nabo basaanye babalabulirengawo bajje nga beetegese okwogera olulimi ku mutindo ogusaanidde, nga tebajoboja oba okuwagika ebigambo ebigwira ku Luganda ebitasaanira. Wano nno neebaza nnyo emikutu gya leediyo ezimu egifuba okuwabula aboogezi  baazo ababa basobezza mu njogera y'Oluganda. Tebaggyanga okwo.Abawuliriza leediyo ya BBC eya Bungereza tebalema kutendereza mutindoogwa wagguluolulimi Olungereza gye lwogerwamu.Ka naffe twekakabe, twekembe, twejuubetutaase era tutumbuleomutindo gw'enjogera y'olulimi lwaboffe Oluganda.

nserekod@yahoo.com

© 2014 Dan D. Ntanda Nsereko

Comments

24.12.2020 20:14

Sennoga shafiq

Nsanyuse okufuna wensobola okuteleeleza olulimi o luganda, Banange mwebale nyo omulimu guno

12.08.2016 08:46

Gulere , Ph.D.

Omwami, omwamizi, okwama, okwamya, my kutegeera kwange - president, director or leader, to yield, to support yield.

24.05.2016 08:32

Bagala Joe

Tubebaza nyo olw'omurimu guno gwe mukola..!

11.04.2015 10:27

Margaret Nankinga

Weebale ssebo okuwabula kwo naye ekyo si kituufu, ekigambo ekyo ky'owandiise ''kawaayiro'' kiwangaala. Tewandiwangadde singa mu maaso ga 'wa' wabaddewo ennukuta ey'ekinnyindwa ng'egattiddwa ku nsirifu

11.04.2015 09:13

Mukasa Tebajjanga

Okuwabula: Mu luganda bwe tuwandiika ekigambo okugeza "Kawaayiro" tekiwangaala ntegeeza nti waa tewangaala.