Engeri ebintu ebipya gye bifunirwa amannya mu lulimi Oluganda

OLULIMI  Oluganda luzze lukula kubanga lwaniriza  ebintu ebiggya ebiyingira mu bulamu bw’omuntu era ne biyingira mu lulimi  nga bituumwa amannya, ekiyamba olulimi okukula.

Kyokka wadde kino kikolebwa, olulimi mu kuyingiza ebigambo bino ebipya terusuula mateeka ga mpandiika yaalwo wadde ago kwe lwesigama nga luzimba ebigambo ebiggya.

Ebintu ebipya bwe biba biyingizibwa mu Luganda, tugoberera enkola ezizze zigobererwa ebbanga lyonna okugunja ebigambo by’Oluganda. Ezimu ku zo ze zino wammanga:

(i) Okubifunira ebigambo eby’Oluganda ebitegeeza ebintu ebyo nga tusinziira ku mulimu gwe bikola, embeera yaabyo oba envuga yaabyo.

(ii) Okubigandawaza nga tubireeta butereevu mu lulimi naye nga tugoberera empandiika y’Oluganda entongole.

Okufuna ebigambo by’Oluganda okusinziira ku mulimu:

Enkola eno egoberera bino wammanga, okugunja ebigambo ebipya.

(a) Enkozesa y’obuwakatirwa

Nga tufuna erinnya ly’ekintu ekipya emu ku nkola ekozesa obuwakatirwa obugattibwa ku bigambo ebiriwo  ne tuzimba ekigambo ekipya kye tukozesa ku kintu kino ekipya.

Obuwakatirwa buno oluusi tubussa ku ntandikwa y’ekigambo (prefixes) olulala tubussa ku nkomerero y’ekigambo (suffixes)

Obujja ku ntandikwa

Akawakatirwa:  ‘Kali’

Kano kazze kakozesebwa mu Luganda okuzimba amannya okugaggya mu mannya amalala.

Okugeza: Kalirugambo

 Kali (kawakatirwa)  + lugambo (linnya)

Kali + lugambo = kalirugambo

Ekigambo lugambo nga weekiri akawakatirwa kali kaakozesebwa okuzimba erinnya eddala Kalirugambo eritegeeza omuntu alina olugambo. (Wekkaanye nti   l efuuka r bw’eba eddirira i mu kigambo).

Kalibutemu- Kali + butemu

Enkola eno y’emu  ogikozesa okuzimba ebigambo by’ebintu ebipya naddala ebya ssaayansi ne tekinologiya ng’obituuma amannya.

Eno y’enkola eyakozesebwa okuyiiya ekigambo

Kalimagezi – computer

Kali + magezi = Kalimagezi

 

(b) Enkozesa y’embu z’amannya okuzimba amannya amapya

Enkola endala naddala nga tuzimba amannya g’ebintu ebipya ebibadde tebimanyiddwa mu lulimi erimu okusooka okufuna olubu mw’ogenda  okussa erinnya eryo ly’ozimba. Fuba okulaba ng’erinnya eppya ly’ozimba  ligya mu mbu z’amannya (noun classes) 23  ze tulina mu lulimi Oluganda.

Mu nkola eno, tuddira ennyingo eraga olubu ne tugigatta ku kikolwa, olwo ekibadde ekikolwa ne kifuuuka erinnya.

Okugeza Olubu olusooka: MU

Mutaputa- Interpreter

Mu + taputa= Mutaputa

Tuyinza n’okuddira olubu ne tulugatta ku kikolwa ate ne tugattako n’erinnya eddala olwo ne tukola erinnya eddala eririna amakulu ageetengeredde

Musigansimbi- investor

Mu + siga + nsimbi = Musigansimbi

 

Oluusi tugatta olubu lw’erinnya n’akawakatirwa  ne tuzimba ekigambo ekirina amakulu amapya

Okugeza:

Kkakkalabizo- ofiisi (w’okolera)

Kkakkalabya = kola

Kkakkalabiza = Kolera

kkakkalabiza + o (akawakatirwa akalaga ekifo) 

= kkakkalabizo (a +o, o etta a n’osigaza o)

Mweyubulo – Evolution

Kiva mu kikolwa kweyubula.

Kino bwe kibaamu okwekolako (self inficting)  tukozesa  ee okulaga okwekolako kuno olwo n’ofuna

eeyubula

Mu (lubu) gattako eeyubula + o (akawakatirwa) = Mu+eeeyubula+o

Mu Luganda u +e = w  (ate a +o, o etta a n’osigaza o)

= Mweyubulo.

 

Mutimbagano- Internet

Mu  (ya lubu lwakusatu) + timba (kikolwa) +gana (akawakatirwa akalaga  okwekolako) + o (kawakatirwa)

Ekikolwa kiri Timba olwo  mu n’eba ennyingo y’olubu. Ebintu bwe biba nga buli kimu kikola ku kinnaakyo olwo tukozesa gana okulaga okwekolako kuno, olwo n’ofuna ekikolwa  timbagana. Kati akawakatirwa O  ne kagattibwako okukola erinnya eriva mu kikolwa.

Mu + timba + gana +o = Mutimbagano

Enkola eno y’emu bajjajjaffe gye baakozesa okuzimba amannya nga: Ffumbiro, kkuumiro, Ssinzizo n’ebirala.

Kikaliriro- mass killings by burning

Ki (nnyingo ya lubu lwa musanvu) + kalirira (kikolwa)  +o (kawakatirwa akakozi k’erinnya)  = Kikaliriro

Ki + kalirira + o = Kikaliriro

© Oluusi tuzimba ebigambo nga tugatta ebigambo bibiri (2) oba okusingawo ne tubigatta  ku lubu lw’erinnya okukola ekigambo kimu ekirina amakulu ageetengeredde.

Ennyingo y’olubu

+ ekikolwa

+ erinnya

= erinnya eppya

Mu

Va

Bulaaya

Muvabulaaya (Locals of a non-European country who have been to Europe)

Mu

Siba

ttaayi

Musibattaayi (Cookies shaped like                             ties)

Mu

Kubya (kiva mu kuba)

byayi

Mukubyabyayi (Weakling,                                ineffectual)

Mu

sala

nkwawa

Musalankwawa ( sleeveless shirt)

Mu

nuuna

ntuuyo

Munuunantuuyo (T-shirt)

Mu

tega

nsowera

Mutegansowera (kkanzu)





Oluusi mu kifo ky’olubu lw’erinnya tukozesa nnakasigirwa ey’obuntu ( personal  pronoun) gye tugatta n’ekikolwa wamu n’erinnya ne tuzimba ekigambo ekipya.

Okugeza:

Nkubakyeyo- migrant worker

N (nnakasigirwa ey’omuntu asooka) + Kuba (kikolwa) + kyeyo (linnya).

N + kuba + kyeyo = Nkubakyeyo

 

(d)  Oluusi tuddira  akawakatirwa ‘Lu’ ne tukagatta n’ekikolwa ne tuzimba erinnya.

Lukululana- Trailer

Lu (kawakatirwa) + kulula (kikolwa) + na (kawakatirwa ka kwekolako)

Lu + kulula + na = Lukululana

Lubbira – Diver

Lu (kawakatirwa)  + bbira (kikolwa)

Lu + bbira = Lubbira

 

Oluusi tukozesa akawakatirwa ‘Lu’ ne tukagatta n’ebigambo ebiwerako;  bibiri oba okusingawo ebyetengeredde ne tubigatta okukola ekigambo ekimu ekirina amakulu agaawuka ku makulu g’ebigambo biri bye twagasse.

Lumiramwoyo-  suicide bombers

Lu (kawakatirwa)  + mira (kikolwa)  + mwoyo (linnya)

Lu + mira + mwoyo = Lumiramwoyo

Lumalabantu- serial killer

Lu + mala+ bantu

Enkola y’emu ye yakozesebwa okuzimba amannya agamanyiddwa mu Luganda  omuli luliiramunnyana, lusiriizantamu n’amalala.

Akawakatirwa ‘Ki’

Akawakatirwa ‘Ki’  nako kakozesebwa mu ngeri y’emu nga ‘lu’ ne tukagatta ku kikolwa n’erinnya ne tuzimba ekigambo ekipya

Okugeza:

Kittabantu- Genocide

Ki (kawakatirwa) + tta (kikolwa) + bantu (linnya)

Ki + tta + bantu = Kittabantu

Kizaalaggumba-  women who take very long  to conceive after giving birth.  (ekigambo kino oluusi kikozesebwa mu nsobi okutegeeza ‘Family planning’  ate nga kino kitegeeza entegeka y’ezzadde)

Ki (kawakatirwa) + zaala (kikolwa) + ggumba(nakongeza kikolwa)  (ekkazi eddene bwe liba terizaala olyogerako nti ggumba)

Ki + zaala + ggumba = Kizaalaggumba.

 

Kisalamitwe- mass beheadings

Ki + sala + mitwe

Okugandawaza ebigambo:

Ebigambo byonna ebiva mu nnimi engwira, bwe biba biyingizibwa butereevu mu Luganda biteekwa okugoberera empandiika y’Olulimi Oluganda entongole. Ebyo ebigandawazibwa bwe biba biyingizibwa mu lulimi tufuba okukulaba nti tusigaza envuga yaabyo nga bwe biwulirwa mu lulimi mwe biva.

Okugeza essaati  eva mu shirt eky’Olungereza era envuga yaakyo yakuumibwa

Ekkooti- Coat

Ettaayi- tie

Keeki- cake

Caayi- chai

Cceeke – cheque

Waya- wire

Kkabada- cupboard

Taputa- interpret

Kale tugende tuzimbe ebigambo bya ssaayansi ne tekinologiya tubiyingize mu lulimi lwaffe tulugaggawaze naye mu kaweefube waffe ono tulina okufuba okugoberera amateeka g’empandiika y’olulimi era n’ago olulimi ge luzze lugoberera okuzimba ebigambo ebipya omuli gano ge mbalaze n’amalala ge tujja okulaba gye bujja.

(Margaret Nankinga).

Ngezezzaako okutuuma buli kitundu kya kompyuta erinnya ly'Oluganda. Ggwe olowooza otya? Ganaakola?

Ngezezzaako okutuuma buli kitundu kya kompyuta erinnya ly'Oluganda. Ggwe olowooza otya? Ganaakola?

Bino tubiyingize mu Luganda?

MUTALE TTENDO:

OKUGUNJAAWO ebigambo ebipya nakitandika emyaka 6 egiyise era ebigambo bino nsaba abantu babikubaganyeeko ebirowoozo oba bisaana okuyingiza mu lulimi.

Ofiisi: Kkakkalabizo

President: Kafugansi

Fork: Ntoozo

    Sideboard : Engabuliro

    Thermos  flask : Embugumu

    Printer : Enviisi

    Monitor : Endazi

    Tractor : Nnimyo

     Fridge : Embuutiti

    Investor : Musigansimbi 

MPANDIIKE ENSIRIFU EMU OBA BBIRI?

Engeri enkozesa y’ensirifu emu oba eza nnabansasaana gy’ekyusa amakulu g’ebigambo

Kigambibwa nti olumu omuntu yattibwa ng’entabwe eva ku mpandiika n’enjogera y’ebigambo. Kigambibwa nti mu myaka egy’edda omunene omu baamutegeeza ku muntu eyali akwatiddwa. Omunene kwe kukwata olupapula n’awandiikako ekigambo nti “Mumute”, n’aluwa omubaka alutwalire abaali bakutte omuntu ayogerwako. Obubaka bwe bwatuuka, gwe baabuwa okubusoma olw’obutamanya bulungi mpandiika na kusoma lulimi Luganda, yasoma nti “Mumutte”. Bwe batyo ne bakwata omusibe ne bamutta, so nga baali babalagidde bamute.

Empandiika y’Oluganda wamu n’ensoma ddala bisaana okwegendereza kubanga bw’owandiika ensirifu emu mu kifo ky’ebbiri oba bbiri mu kifo ky’emu amakulu gayinza okukyukira ddala ky’obadde otegeeza ne kibula.

Wekkaanye ebigambo bino wammanga:

1- Okuta: Kwe kuddira ky’obadde okutte n’okireka

     Okutta: Kwe kuggyawo obulamu bw’ekintu oba omuntu.

2- Okuba: Kikolwa kiyambi.

     Okubba: Kwe kutwala ekitali kikyo.

3- Okusa: Kwe kunyiga ekintu nga bw’okuuta okutuusa ky’okuuta bwe kifuuka buwunga.

    Okussa: Kwe kuyingiza omukka mu mubiri nga bw’ogufulumya.

4- Kata: Kumpi

   Katta: Akantu akaggyawo obulamu bw’omuntu.

5- Kaga: Oluga olutono

    Kagga: Omugga omutono.

6- Kaza: Kwe kuddira ekintu ekibadde ekibisi n’okimalamu amazzi ne kikala.

     Kazza: Akantu akakomyawo.

7- Kabi: Bulwa

     Kabbi: Akantu akatwala ebitali byako.

8- Kagi: Eggi ettono.

    Kaggi: Oluggi olutono.

9- Kaba:  Eggumba ly’oluba.

     Kabba:  Akantu akaatwala ebitali byako

10- Kuza: Kwe kusobozesa ekintu okukula

     Kuzza: Kwe kukomyawo ekintu.

11- Kuma: Fuuwa omukka ku  muliro.

      Kumma: Kwe kugaana okuwa omuntu ekintu.

12- Siga: Ssa ensigo mu ttaka zimere.

       Sigga: Ekyewalula ekirina amagulu amangi ekiruma.

         Ssiga: Erimu ku mayinja asatu agakola ekyoto, kwe bateeka sseppiki nga bafumba.

13-   Sasa: Kwe kusaasaanya ebintu buli kimu waakyo.

      Ssasa: We bookera ebyuma n’okuweesa.

14- Saba: Kwe kwogera ne Katonda mu buwombeefu.

       Sabba: Nze saatwala bintu bitali byange.

15- Muka: Okulunga ekintu ekisusse obungi.

       Mukka: Empewo etambula eva mu kintu nga kyaka.

16- Muto: Si mukulu.

      Mutto: Akantu akagonda akatuulwako.

17- Mubi: Si mulungi.

       Mubbi: Atwala ebitali bibye.

18- Kibo: Kiku

       Kibbo: Ekiruke mu bukeedo n’obuso mwe basitulira ebintu.

19- Kisa: Kwe kukolera omuntu obulungi

       Kissa: Kivaako okufa.

20- Toma: Tomatira.

      Tomma: Togaana kumuwa.

21- Endagu: Omuntu alagula.

       Endaggu: Kika kya mmere ya mu ttaka.

22- Bula : Nga tewali akulaba

       Bbula: Ebintu nga tebiriiwo

23- Manya: Ekintu si kipya gy’oli.

       Mannya: Kye bakutuuma nga kikwawula ku balala era nga kye bakuyita.

24- Yeba: Nafuwa

       Yebba: Okwemulula oba okutwala ekintu kyo ate n’olowoozesa abalala nti waliwo akibbye

25- Gula: Okuwaayo ssente ofune ekintu

        Ggula: Okusumulula oluggi omuntu n’aba ng’asobola okuyingira.

26- Kula: Weeyongerako  mu myaka ne mu nneeyisa.

       Kkula: Ekintu ekirungi era ekisanyusa okulaba.

27- Lugo: Olukomera

      Luggo: Omuti omuteme, omutono ddala ate nga muwanvu.

28- Tuza: Okuleetera ekintu okutuga omuntu.

       Tuzza: Okukuba mu mpolampla ky’okuba nga kivuga.

29- Tuga: Okunyiga obulago omuntu oba ekisolo ne kiremwa okussa

       Tugga: Ekintu ekibadde kidduka okwesiba omulundi gumu

30- Tama: Ekintu nga okikkuse tokyakyetaaga

       Tamma- Tagaana kuwa muntu kintu.

31- Bala: Okuzuula omuwendo gw’ekintu.

      Bbala: Ettondo erigwa ku kintu ne liremerako

32- Fuba: Nyiikira

      Ffuba: Ekifuba ekinene ennyo

33- Yaza: Kwe kuwenja ekifo oba ekintu ng’oliko ky’onoonya.

     Yazza: Yali akitutte n’akikomyawo.

34- Baka: Kwe kukwata ekintu ekibeera kikukanyugiddwa.

      Bakka: Baava waggulu ne badda wansi.

35- Okusa: Kwe kukuutira ekintu wakati w’amayinja okutuusa nga kifuuse buwunga.

      Okussa: Okusika omukka ng’oguyingiza n’okugufulumya mu mubiri.

36- Ka: Ewammwe oba w’obeera.

       Kka: Va waggulu odde wansi.

37- Okugula: Okuwaayo ssente bakuweemu ekintu.

      Okuggula: Kwe kuta awayingirirwa awabadde awaggale.

38- Bikka: Okufuna ekintu n’okissa ku kintu ekirala ky’okitaddeko nga tekirabika.

     Bbika: Kwe kusindika ekintu munda naddala mu mazzi.

     Bika: Okulangirira okufa

39- Toba: Omuntu/ ekintu okuyiirwa amazzi.

       Tobba: Totwala kintu kye batakuwadde.

40- Sajja: Saagenda gy’oli.

       Ssajja: Omusajja omunene ennyo.

41- Kuba: Funa ekintu okikoonye ku muntu oba ekintu n’amaanyi ng’ogenderera okulumya.

Kubba: Okutwala ekintu kye batakuwadde.

42- Siba: Okunyweza ekintu ng’okozesa ekyayi, omuguwa oba ekirala.

      Sibba: Sitwala kintu kye batampadde.

Mpandiike empeerezi bbiri oba emu?

Engeri ebigambo gye bikyusa amakulu okusinziira ku muwendo gw’empeerezi

Mu Luganda empandiika kikulu nnyo kubanga osobola okukyusa amakulu g’ekigambo ng’oyongeddemu bwongezi oba okutoolamu empeerezi emu.

Tunuulira ebigambo bino wammanga:

1- Okusesa                  Okuseesa

Okusesa: kwe kuleetera omuntu okuseka

Okuseesa: Kwe kusindika enku (oba ekintu ekitalina bulamu) mu kyoto (oba mu maaso) nga zibadde ziggweeredde.

2- Okusaka                  Okusaaka

Okusaka: Okukola omulimu ne bakusasulamu mmere.

Okusaaka: Kwe kukubaakuba ekikuta ky’omutuba n’okigaziya ng’okola olubugo

3- Okusona             Okusoona

Okusona: Kwe kugatta ebitundu by’omukeeka awamu ng’okozesa empiso n’obuso oba ebyayi

Okusoona: Okusooka omuntu omulala ku kintu naye ky’abadde ayagala okufuna.

4- Ayola                  Ayoola

Ayola: Omuntu okukuza omwana mu mubiri omwoyo n’obwongo.

Ayoola: Omuntu okukuhhaanya ebintu n’abiggya we bibadde.

5- Okusenya                     Okuseenya

Okusenya: Kwe kukwata omuswaki n’olongoosa amannyo okugaggyako obucaafu

Okuseenya: Ze nviiri okugenda nga ziggwaamu langi yaazo enzirugavu ey’obutonde kyokka ate nga tezinnafuukira ddala nvi.

6- Okusiga              Okusiiga

Okusiga: Kwe kukwata ensigo n’ozissa mu ttaka ng’oyagala zimere.

Okusiiga: Kwe kuddira omuntu oba ekintu n’okissaako ekintu ekirala ekikyusa langi yaakyo.

7- Okusiba               Okusiiba

Okusiba: Kwe  kunyweza ekintu ng’okozesa omuguwa ekyayi oba ekintu ekirala ekikikuumira awamu.

Okusiiba: Kwe kumala ebbanga nga tolya n’oyitibwako ebijjulo byonna ebiriibwa mu lunaku nga terunnaziba.

8- Okusula            Okusuula

Okusula: Obudde okuziba ne bukusanga mu kifo era ne weebaka eyo okutuusa nga Bukedde.

Okusuula- Kwe kikwata ekintu n’okikanyuga.

9- Okukola             Okukoola

Okukola: Kwe kubaako omulimu gwe weenyigiramu.

Okukoola: Kwe kuggya omuddo mu bimera byo bye wasimba.

10- Okusoba            Okusooba

Okusoba: Ebintu okwonooneka oba okusukkamu.

Okusooba: Kwe kutambula empola

11- Okupika                   Okupiika

Okupika: Kwe kukozesa ebbomba oba ekyuma ekirala okussa omukka mu kintu; okugeza okussa omukka mu mupiira nga weeyambisa ebbomba.

Okupiika: Kwe kuwa omuntu ebintu ebisukkiridde naddala ebyokulya n’okunywa.

12- Okuseera               Okusera

Okuseera: Kwe  kussa ku kintu ky’otunda bbeeyi esukkiridde eyo gye kigwana.

Okusera:  Ye muntu okutembebwa ekitambo n’adduka ekiro naddala ng’ali bukunya.

13- Okuleega                 Okulega

Okuleega: Kwe kusika ekintu ne kiwanvuwa okusinga bwe kibeera nga tokisise.

Okulega: Kwe kuloza ku kintu naddala ekyokunywa owulire obuwoomi bwakyo.

14- Okukoona              Okukona

Okukoona: Kwe  kuddira ekintu ekimu n’okikuba ku kintu ekirala.

Okukona: Y’emmere okugaana okuggya n’eddugaalirira

15- Okuboza                   Okubooza

Okuboza- Kwe kweringalinga n’ekintu n’omala nakyo ebbanga nga tolina ky’okikozesa.

Okubooza- Okujjuza ennyo ekintu, by’otaddemu ne bitandika n’okuyiika nga tokyalina w’ossa birala.

16- Okuwera            Okuweera

Okuwera:  Kwe kugaana ekintu ekibadde kikolebwa okuddamu okukolebwa.

Okuweera: Okuwummula/ okukkakkana

17- Okuwola              Okuwoola

Okuwola: Ekintu okuggwaamu ebbugumu oba  omuntu okukuwa ekintu eky’ebbanja.

Okuwoola:  Kwe kugenda ng’osala ku kiti n’akambe oba ekiso, okukendeeza obunene bwakyo

18- Okuwuba               Okuwuuba

Okuwuba: Ekintu okusoba.

Okuwuuba: Ouwanika omukono oba ekintu nga bw’okiggya eno okukizza eri.

19- Okuwoma              Okuwooma

Okuwoma (omutwe): kwe kukulembera oba kwenyigira mu  kukolebwa kw’ekintu.

Okuwooma: Ekintu ekinyuma oba ekyo ky’olya ne weenuguuna.

20- Okusika                   Okusiika

Okusika: Kwe kukwata ekintu n’okizza gy’oli ng’okozesa amaanyi

Okusiika: Kwe kussa butto mu ssefuluya n’ossa ku muliro olwo n’ossaamu ekintu n’ofumba nga totaddeem mazza oba okussa ekintu mu sseppiki enkalu  etaliimu kintu kyonna n’ossa ku muliro n’ofumba nga bw’otabulamu

21- Okusala         Okusaala

Okusala: Kwe kuddira ekintu eky’obwogi nga akambe oba  akagirita n’okikozesa okukutula mu kintu ekirala oba okukireetako olubale.

Okusaala: Kwe kusinza kw’Abasiraamu

22- Okusaba            Okusaaba

Okusaba: Kwe kugamba omuntu akuwe ekintu.

Okusaaba:  Kwe kwesiiga ekintu ekigonda ku mubiri gwo.

23- Okulama            Okulaama

Okulama: Kwe kusimattuka embeera y’okufa ng’obadde tosuubirwa.

Okulaama: Kwe kulaga b’oyagala basigaze ebintu byo ng’ofudde.

24- Okumala              Okumaala

Okumala: Okukomekkereza ekintu ky’obadde okola.

Okumaala: Okusiiga ekintu kyonna n'okimetta.

25- Okusuba            Okusuuba

Okusuba: Kye kintu okukuyitako ng’ate obadde oyagala okukyetabako oba ng’obadde okyakyagala.

Okusuuba: Kwe  kuwuuba ekintu mu bbanga kyokka nga kiriko ekitundu ekimu ekirina ekikikutte

26- Okutuma                  Okutuuma

Okutuma- Kwe kuwa omuntu ekiragiro akole ekintu.

Okutuuma- Kwe kussa ebintu awamu ne bikola akaswa oba okuwa ekintu erinnya.

27- Okutama             Okutaama

Okutama- Kye kintu okukunyiwa n’oba nga tokyakyagala.

Okutaama: Kwe kukambuwala nga tokyawuliriza nsonga, busungu bwe bukukozesa.

28- Okutega       Okuteega

Okutega: Kwe kussaawo omutego okwase omuntu oba ekintu

Okuteega: Kwe kuzinduukiriza omuntu nga tategedde oluvannyuma  lw’okumulindira mu kafo w’omanyi nti ajja kuyitawo.

29- Okuvuma              Okuvuuma

Okuvuma: Kwe kugamba omuntu ebigambo ebimutyoboola, okumulengezza n’okumunyiiza.

Okuvuuma: Eddoboozi erikolebwa emmotoka oba  ensolo.

30- Okuwoza              Okuwooza

Okuwoza: Kwe kumalamu ekintu ebbugumu ne kinnyogoga

Okuwooza: Kwe kulobola ekintu.

31- Okubuza          Okubuuza

Okubuza: Kwe  kuggyawo ekintu ne kiba nga tewali amanyi gye kiri

Okubuuza: Kwe  kulamusa omuntu oba okubaako by’omusaba akutegeeze.

32- Okukula               Okukuula

Okukula: Kye kintu oba omuntu okweyongerako mu myaka  oba ekiseera ky’amaze

Okukuula: Kwe kusigula ekintu ekyamera mu ttalka n’okiggyamu bukolokolo.

33- Wema                   Weema

Wema: kwe kukozesa olulimi okusitula obusigo obutono nga obw’entungo okubussa mu kamwa ng’ogenda kubulya.

Weema: Akayumba akakole mu ttundubaali oba olugoye olukaluba mw’osobola okusula oba okweggama enkuba n’omusana.

34- Bana                       Baana

Bana: Guno muwendo gwa bantu; abasajja, abakazi oba abaana nga bali 4.

Baana: Abantu abatannaweza myaka 18

35- Bina               Biina

Bina: Kitegeeza 400.

Biina (ensige): Kwe kusitula ebisige okubyambusa n’okubissa mu ngeri evuma n’okulengezza.

36- Kama               Kaama

Kama: Kwe kukamula amabeere g’ekisolo ekiyonsa okuggyamu amata.

Kaama: Kino kika kya mmere ya mu ttaka kimera mu bibira.

37-  Okukaka               Okukaaka

Okukaka: Kwe kukozesa omuntu ekintu nga teyeeyagalidde oba olw’empaka.

Okukaaka- Kye kintu okuba nga ekimenyeka ne kivaako mu kifo we kyandibadde

38- Okukiina                Okukina

Okukiina- Kwe  kwogera ekintu nga taokitegeeza oba okuteeka omuntu mu kifo ky’omanyi nti takigyamu

Okukina: Kwe kuzingako abantu n’obatuulako ng’obayitiriddeko oba obasukkulumyeko.

39- Akaaba                        Akaba

Akaaba: Ye muntu okuba mu maziga

Akaba: ly’eggumba ly’oluba.

Comments

Mwanje John Bosco

28.08.2019 11:24

1. Flask = Eccupa Kakuumabbugumu.
2. Calculator = Embaziso, Ssekabalira.
3. Printer = Enfulumyamirimu
4. Scanner = Enyingizamirimu
5. Steppler = Kagattampapula
6. Puncher = Empummulabiwandiiko.

Federiko

19.04.2017 22:30

Mbalamusiza nyo nange nsomesa kompyuta muluganda naye nze mouse nagituuma Ebojjo olwokuboja ela keyboard ne ngituuma Lunyigo. Mwebale omulimu

Mutale

12.08.2014 20:24

Yoogaayoga.
Abaganda tugamba nti engabo gy'otakuteemu ... Omulimu mulungi, banaffe kabatuwe endowooza zaabwe tulabe.

Mutale

09.08.2014 21:07

Computer = Enviisirizo
Mouse = Akatazakalazi
Monitor = Endazi
Printer = Enviisi

Margaret Nankinga

08.08.2014 11:49

Naawe obadde osirise. Nze ekinsirisizza ngezaako kuwa bitundu bya kompyuta mannya ga Luganda era amangu ddala nga mbimaze ojja kubiraba ku muko guno.

Mutale

08.08.2014 11:44

Bannange nga musirise nnyo ?

Ssentanda Medadi

22.07.2014 06:54

Mw Mutale weebale omulimu; kye nteesa mu kaseera kano kwe kuwandiika ebigambo ebyo mu bujjuvu, e.g., office ebeere ekkakkalabizo; fork Entoozo. Ku ebyo ekigambo kya sideboard ndaba ng'ekitatuuka, tuky

Margaret Nankinga

19.07.2014 12:56

Mw. Mutale weebale okuyiiya. Nze ndowooza nti omuyiiya era yandirowoozezza ne ku ky'okuba nti ekigambo ky'oyiiyizza kiyamba omuntu okukuba ekifaananyi ku ky'oyogerako asobole okukikwata.

Margaret Nankinga

19.07.2014 13:02

Ate bwe tuba tulina ebigambo by'Oluganda bye tuludde nga tukozesa era nga bisimbye amakanda lwaki ate tuyiiyaayo ebirala? Wano njogera ku kafugansi. Omukulembeze w'eggwanga bulijjo kye tukozesa kirina kabi ki? Endazi, musigansimbi n'entoozo mbyagadde era

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page