KAFULUMYE!


Kasange ku mukutu guno:

https://lugandalusogalugwerecommission.com/381335025#!/products/yiga-olulimi-n-0x27-ebyobuwangwa-0x3e--0x3a--obuyinza-n-0x27-ekitiibwa-buganda-by-0x27-ewa-namasole-


alw martin12
alw martin15
alw martin2
alw martin10
alw martin1
alw martin4
alw martin13
alw martin11
alw martin17
alw martin
alw martin5
alw martin20
alw martin18
alw martin14
alw martin9
alw martin6
alw martin3
alw martin19
alw martin15
alw martin11
alw martin1
alw martin4
alw martin12
alw martin2
alw martin13
alw martin17
alw martin14
alw martin
alw martin5
alw martin7
alw martin6
alw martin16
alw martin10
alw martin18
alw martin3
alw martin19
alw martin15
alw martin11
alw martin1
alw martin2
alw martin12
alw martin8
alw martin5
alw martin7
alw martin17
alw martin14
alw martin
alw martin3
alw martin10
alw martin18
alw martin6
alw martin13
alw martin20
alw martin16

Okukuza wiiki y'ennimi ennansi

kutwaliddwa mu masomero

Ebijaguzo by'okukuza wiiki y'ennimi za Afirikaennansi bituuse ne mu masomero ne gakubirizibwa okwgazisa abayizi ennimi zaabwe n'okubatendeka okuziyiiyizaamu amagezi ag'ekikugu basobole okukulaakulanya amawanga gaabwe.

Omukwanaganya w'akakiiko akakwanaganya ebikujjuko byawiiki y'ennimi za Afirika ennansi Margaret Nankinga bino yabyogedde bwe yabaddeku bujaguzo bya wiiki eno ebyategekeddwa ku ssomero lya St. Martin's S.S  e Naggalama, Mukono. Eno abayizi baayolesezza obukugu bwabwe mu kusoma bwino munnimi zaabwe, okuvvuunula ebiwandiiko okuva mu Lungereza okubizza mu nnimi zaabwe ssaako ennyimba, amazina n'ebitontome mu nnimi zaabwe enzaaliranwa.

Omugenyi omukulu ku mukolo guno Mw. Andrew Kirabira owa pulojekiti ya Bbanka y'Ensi yonna enoonyereza ku nkola z'obulimi n'obulunzi ez'ekinnansi yatenderezza abayizi olw'omutindo gwe baayolesezza n'abakubiriza  okussa amaanyi mu kuyiga okuwandiika, okusoma ennimi zaabwe era n'okuzeeyambisa okuyiiya ebizimba eggwanga.

Omu ku bagenyi okuva mu yunivasite ya  UgandaMartyrs e Nkozi, Mw. Robert Mudhasi yennyamidde olw'ennimi ezimu nga Olusoga obutaba na bitabo bimala abaana bye basobola okusoma ne bayiga ennimi zaabwe.Yasabye gavumenti eyambeko abawandiisi mu nnimi zino  kisobozese abayizi okufuna ebitabo  mu nnimi zaabwe.



Basabye amaka gaddemu okujjumbira

okusomesa abaana ennimi zaabwe

Obukulu bw'amaka mu kusomesa abaana ennimi zaabwe gwe mulamwa aboogezi abasinga abaabadde ku mukolo gw'okukuza  olunaku lw'ennimi ennansi  gwe baasimbyeko amannyo. Omukolo guno gwategekeddwa Ekibiina Ky'olulimi Oluganda ekikulemberwa omukyala Grace Nansubuga..

Omwogezi omukulu ku mukolo guno, Katikkiro w’Ekika ky’Engo, Mw. Lubowa Ssebina Gyaviira ku Lwokusatu ku lunaku lw’okukuza olunaku Lw’ennimi ennansi munsi yonna  yakuutidde  abazadde obutalagajjalira baana baabwe era bajjumbire okubasomesa ennimi zaabwe babe nga baziyiga kuviira ddala waka.. Omukolo guno gwabadde ku Bulange e Mmengo mu Kampala.

Amyuka omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Bwakabaka Mw. .Peter Zaake, yasabye wabeewo okulambikibwa mu nkozessa y’ebigambo ebitali bimu okusobola okukulaakulanya olulimi Oluganda ng'ono yasembeddwa ne munnakakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere Commission, muky. Naluggya Tomusange eyategeezezza nti omulimu gw'okulabika ku nkozesa y'ebigambo agukoze nnyo naddala mu boogezi b'emikolo gy'okwanjula..  Omukiise mu Lukiiko, Mw. Nviiri yannyonnyodde engeri olunaku luno olwatongozebwa UNESCO gye lwatandikamu.

Margaret Nankinga, akwanaganya akakiiko akategeka ebijaguzo bya wiiki y'ennimi ennansi aka African Languages Coordinating Committee aka African Academy Of Languages (ACALAN) yasabye abazedde okuddamu okujjumbira okugula obutabo obuwandiikiddwa mu nnimi ennansi abaana basobola okubusoma n'okubweyambisa okuyiga okusoma n'okuwandiika ennimi zaabwe. 

alw 2024i
alw 2024l
alw 2024k
alw 2024h
alw 2024g
alw 2024f
alw 2024e
alw 2024d
alw 2024c
alw 2024b
alw 2024a
Alw 2024
ALW pix1

Yategeezezza nti bo we baakulira ebitabo bingi ebiri mu llimi Oluganda baabisomeranga waka ng'abazadde bajjumbira okubigula ne babissa awaka abaana babisome.

Yasabye okugula ebitabo ebiri mu nnimi zaffe efuuke empisa ya Buganda. Yasabye n'abasomesa nga basomesa abaana obukugu mu mirimu egitali gimu naddala okufumba bayigirize n'abaana obukugu mu bintu ebyabwe eby'ekinnansi nga okufumba emmere ey'ekinnansi ng'eno eyamba okutumbula obulambuzi, eggwanga mwe lifuna ssente.

Ye omuwandiisi webitabo by’olulimi oluganda, Dr Adam Kimala  yakunze Abaganda okwagazisa abaana olulimi lwabwe nga balubasomesa okutandikira ddala mu maka mwe basibuka.

Abateesa baasembye Buganda esseewo ekifo mu lubiri lwa Ssaabasajja   basomeseza era n'okutundira emmere y'ekinnansi era efumbiddwa mu kinnansi, abalambuzi abajja baveewo nga bategedde byonna ebikwata ku mmere y'Omuganda. (EBIFAANANYI BITUWEEREDDWA EKIBIINA KY'OLULIMI OLUGANDA)

AKATABO AK'ENJAWULO OLW'OKUKUZA WIIKI Y'ENNIMI ENNANSI MU AFIRIKA!

YIGA OLULIMI N'EBYOBUWANGWA, akatabo nnamba mukaaga kafulumye!

  • Emyaka 147 egya kaweefube w'okuyigiriza abantu mu Uganda okusoma n'okuwandiika mu nnimi zaabwe
  • Ebigambo abanene bye bazze boogera mu nnimi zaabwe
  • Ensibuko y'olulimi Oluganda ne bwe luzze lukyuka
  • Amannya g'abantu ag'ebika agaggyibwa mu butonde bw'ensi
  • Kasange mu dduuka eriri ku mukutu guno: 

https://lugandalusogalugwerecommission.com/381335025#!/products/yiga-olulimi-n-0x27-ebyobuwangwa-0x3a--okukuza-wiiki-y-0x27-ennimi-za-afirika

OMUKISA GUUGUNO OKUYIIYA OLUYIMBA KU BUKULU BW'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI


AKADEME ya Afirika ey'ennimi, eya African Academy of Languages (ACALAN) mu kaweefube w'okutumbula ennimi ennansi  n'okukuza wiiki y'ennimi ennansi mu Afirika, esaba abantu okuyiiya oluyimba olunaalaga obukulu bw'ennimi zino mu byenkulaakulana ya Afirika.

Wiiki y'ennimi za Afirika ennansi egenda kubaawo okuva nga Febwali 21 okutuuka nga Febwali 28, 2024,

Buli muntu akkirizibwa okuyiiya oluyimba luno nga bw'alabye era bwe lunaamala okukakasibwa lwakuyimbibwa abayimbi abakugu mu Afirika era lutalaage wonna mu Afirika nga luyimbibwa okwolesa obukulu bw'ennimi zino.

Omuntu yenna wa ddembe okuyiiya ebigambo by'ayagala birabikire mu luyimba luno ne bwe luba lunyiriri lumu lwokka oba okuyiiya envuga y'ebivuga ebigoberera oluyimba luno oba okululeeta mu ngeri ey'ekitontome olwo abakugu ne balusengeka okulufuula oluyimba.

Ebikulu ebinaagobererwa mu luyimba luno mulimu:

Okuba ng'oluyimba lukubiriza okussaawo enkola  ezitumbula ennimi za Afirika nga omubumbirano gw'okwegatta, enkulaakulana, emirembe n'obutebenkevu mu Afirika.

Oluyimba lujja kuba lwesigamiziddwa ku nsonga nti wadde twavvuunuka obufuzi bw'amatwale naye Abafirika kikyabakakatako okukozesa ennimi engwira ate nga kino kireka bangi emabega mu byenkulaakulana kubanga abantu nga 40 ku buli 100 be bokka abasobola okukozesa ennimi zino engwira mu Afirika, olwo abalalala, 60 ku buli 100 ne baba nga balekeddwa ebbali mu byenkulaakulana. Noolwekyo twetaaga okukozesa ennimi zaffe enfirika mu butongole mu mbeera zonna ez'obulamu bwaffe naddala mu byenjigiriza n'enkulaakulana.

Twetaaga okwegatta n'okukolera awamu okutumbula ebyobuwangwa n'ennimi za Afirika nga tuyita mu bitone eby'enjawulo era oluyimba olunaaba luyiiyiziddwa lujja kutaputibwa n'okuyimbibwa abayimbi abanaaba balondeddwa okuva wonna mu Afirika.

Oluyimba oyinza okuluweereza ku ndagiriro eyo eri ku kiwandiiko ekyo ku ddyo oba eri mnankinga@hotmail.com 

OKUKUZA WIIKI Y'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI, 2024

     FEBWALI 21-28

ENTEGEKA ez'okujaguza wiiki y'ennimi za Afirika ennansi ey'omwaka 2024 zitandise ng'akakiiko akavunaanyizibwa ku ntegeka zino aka African Languages Week Coordinating Committee (ALWCC) nga kali wamu n'akakiiko k'ennimi za Afirika aka African Academy of Languages (ACALAN) kamaze okusalawo omulamwa gw'omwaka 2024 nga  guli: "Okusobozesa Ennimi Enfirika Mu Byenjigiriza Eby'omutindo N'obusuubuzi Obutaliiko Miziziko ku Lwa Afirika  Etweyagaza"

Omulamwa guno era gwaggyiddwaamu emiramwa emitonotono (sub- themes) ena okuli: 

-Okussaawo n'okutuukiriza  enkola  eziwa ennimi za Afirika ennansi obusobozi

-Okukozesa ennimi ennyingi olw'ebyenjigiriza eby'omutindo n'obusuubuzi obutaliiko miziziko

-Ennimi Enfirika nga omusingi gw'okuyiga okusoma bwino n'okuwandiika n'ebyenjigiriza eby'omutindo

-Ennimi Enfririka zimusalansalo (ezikozesebwa mu mawanga agasukka mu limu)  nga omubumbirano gwa digito n'obusuubuzi obutaliiko miziziko


https://lugandalusogalugwerecommission.com/381335025#!/products/olulimi-oluganda-n’ebyobuwangwa--okutungira--omwana-ensawo-0x3a---enkola-y-0x27-ekinnansi--ezimba-ob


WIIKI Y'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI, JANWALI 24-30, 2023

BANNAKAKIIKO AKATEEKATEEKA WIIKI Y'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI BASISINKANYE E SENEGAL OKUBAGA ENTEEKATEEKA Z'EBIJAGUZO BYA 2024

BANNAKAKIIKO akateekateeka wiiki y'ennimi ennansi beesitudde ne bagenda mu kibuga Dakar ekya Senegal okwekenneenya bye  baatuuseeko mu bijaguzo bya wiiki y'ennimi ennansi ey'omwaka 2023 ate babage n'enteekateeka z'abijaguzo by'omwaka 2024.

Senegal ly'eggwanga omuva  abadde Ssentebe w'omukago gw'Amawanga ga Afirika ow'omwaka 2022, Pulezidenti Macky Sall ng'ono yasikiddwa Pulezidenti Azali Assoumani owa Comoros, nga Ssentebe w'Omukago gw'Amawanga ga Afirika (AU)  ow'omwaka 2023.

Wiiki y'ennimi za Afirika ekuzibwa buli January okuva 24- 30 .

Mu kuggulawo oluteesa luno akola  nga Dayirekita w'embeera z'abantu mu kakiiko k'Omukago gw'Amawanga ga Afirika, Muky.  Angela Martins eyasomye okwogera kwa Kaminsona, Omubaka Minata Samate Cessouma ataabaddewo, yagambye nti abaagala  okulamula Afirika kirungi bagiramulire ku by'ekola si  ku bo bye baagala ekole. Yasabye Abafirika okweggyamu endowooza enkyamu .

Abalala abaayogedde kwabadde akulira ACALAN Dr Dampha Fafa Lang eyalambuludde emirimu gya ACALAN. akulira akakiiko ka bannannimi abakugu mu ACALAN, Polof. Sammy Chumbow ne Polof. Fary Silate Ka.

Buli munnakakiiko yalambuludde ebyakoleddwa mu ggwanga lye mu wiiki y'ennimi ennansi n'okusoomoozebwa kwe baasanze n'oluvannyuma enteeseganya ku mulamwa gwa wiiki y'ennimi ennansi ogw'omwaka 2024 ne guteesebwako era ne kisalibwawo gubeere ku byanjigiriza okukwatagana n'omulamwa gw'Omukago gw'Amawanga ga Afirika ogw'omwaka ogwo.

Ebigambo byennyini eby'omulamwa guno bijja kufulumizibwa nga bimaze okuyisibwa.

Tujjukire  okweyambisa ennimi za Afirika okulwanyisa n'okumalirawo ddala enjala, okutumbula ebyobuwangwa ebyenfuna n'enkulaakulana tusobole okuzimba Afirika gye twagala.



Bannakakiiko mu kifaananyi eky'awamu oluvannyuma lw'okuggulawo oluteesa lwabwe.

Muky.  Angela Martins ne Dr Dampha mu kuggulawo oluteesa.

Dakar pix6
Dakar pix9
Dakar pix
Dakar pix11
Dakar pix13
Dakar pix7
Dakar pix5

"Ennimi ze twogera n'emmere gye

tulya bifuula Afirika ey'amaanyi"

Okweyambisa Ennimi za Afirika Okussaawo Enkola Ez'ensibo Ezigobera ddala Enjala, Okutumbula Ebyobuwangwa, Embeera z'abantu n'Ebyenfuna olwa Afirika Etweyagaza


Enjogera ezikwata ku mmere

                                 "Omunafu azaala mbwa, omulima azaala balangira"

                                                               (Njogera y'Abaganda)

Share this page

WANDIISA OMUKOLO GWO

OKUKUZA WIIKI Y'ENNIMI ZA AFIRIKA ENNANSI

           GATONNYA (JANWALI) 24-30,  2023

 OMULAMWA: "Okweyambisa Ennimi za Afirika Okussaawo Enkola Ez'ensibo Ezigobera ddala Enjala, Okutumbula Ebyobuwangwa, Embeera z'abantu n'Ebyenfuna olwa Afirika Etweyagaza"

 OMUBALA:  Ennimi ze Twogera n'Emmere gye Tulya Bifuula Afirika Ey'amaanyi

 Wandiisa omukolo gwo wano  https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 Ebimu ku by'oyinza okukola mu wiiki y'Ennimi za Afirika ennansi 2023

 Ennimi za Afirika n'endiisa olw'okutumbula ebyenjigiriza

 -Okusomesa enfumba y'emnere erimu ebiriisa, empaka z'okufumba, -Ennimi ennansi n'emmere ennansi

-Okukunga amasomero abazadde n'abeebyenjigiriza ku ndya ennungi ey'abaana, obukulu n'entegeka y'ekyenkya

-Emisomo n'ebiwandiiko ku bukulu bw'ennimi za Afirika ennansi mu kumalirawo  ddala enjala n'okussaawo ebyenjigiriza ebiri ku mutindo

-Empaka z'okusoma bwino, ennyimba, emizannyo n'ebirala

Wandiisa omukolo gwo wano

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

Ennimi za Afirika ennansi n'okukunga abantu okulima emmere emala

-Kampeyini mu mikutu gy'amawulire, puloggulaamu, emboozi n'ebirango ku kuba n'emmere emala

-Olunaku lw'okusimba emiti gy'ebibala

-Emisomo n'okukubaganya ebirowoozo ku kukozesa emmere nga eddagala

-Ennyimba firimu emizannyo ebikubiriza abantu mu Afirika ku kulima emmere emala, endiisa, n'ebirala

 Wandiisa omukolo gwo wano

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

Ennimi za Afirika ennansi n'ebyenfuna ebyetooloolera ku mmere ennansi

-Okumanyisa abantu ku mpisa n'obulombolombo obwetooloolera ku mmere mu mawanga ga Afirika agatali gamu n'ekigendererwa ky'okugumiikirizagana n'okuwaŋŋana ekitiibwa mu bye tulya

-Emisomo, empaka, ennyimba, n'ebirala

 -Okutegeka emisomo n'ebijjulo by'emmere ennansi mu Afirika

 Wandiisa omukolo gwo wano 

https://africanlanguagesweek.org/conferenceregisterevent.php

 

 

 

 

 

 

Entegeka z’okujaguza wiiki y’ennimi ennansi mu Afirika zikwajja

Entegeka z’okujaguza wiiki y’ennimi ennansi eneebeerawo mu Gatonnya (Janwali) okuva nga 24 – 30 zigenda mu maaso era abakulembeze ab’ebiti byonna, ebibiina, ebitongole, ebitundu n’abantu bonna mu Afirika bakubirizibwa okukola entegeka okujaguza wiiki eno mu mawanga gonna agali mu mukago gwa Afirika nga bategeka emikolo egy’enjawulo   olw’okukuza ennimi zaabwe era bazikozese okulwanyisa enjala, okweggya mu bwavu wamu n’okwekulaakulanya. 

Akulira akakiiko akateesiteesi k’ebikujjuko bya wiiki y’ennimi ennansi mu Afirika, Margaret Nankinga yategeezezza nti wiiki eno ey’omwaka 2023 egenda kukuzibwa ku mulamwa ogugamba nti “African Languages for Sustainable Food Security, Cultural and Social-Economic Development for the Africa We Want” ekivvuunulwa nti “Okweyambisa Ennimi za Afirika Okussaawo Enkola ez’ensibo Ezigobera ddala Enjala, Okutumbula Ebyobuwangwa, Embeera z’abantu N’ebyenfuna olwa Afirika Etweyagaza”.

Wiiki y’ennimi ennansi yassibwawo akakiiko ka African Union ak’ennimi za Afirika  aka African Academy of Languages akakulemberwa Dr Dampha Fafa Lang ng’ekitebe kyako kiri Bamako, Mali, n’ekigendererwa ky’okutumbula ennimi ennansi n’okuzikozesa okutumbula enkulaakulana n’embeera z’abantu mu Afirika. 

Nankinga yategeezezza nti omubala okugenda okutambulira ebikujjuko gugamba  nti “ What we speak and What we Eat Makes Africa Great” ekivvuunulwa nti “Ennimi ze twogera n’Emmere gye tulya bifuula Afirika ey’amaanyi”  

Buli muntu wa ddembe okutegeka omukolo gwe ku mulamwa n’omubala ogwo waggulu.

Yakubirizza abantu okuwandiisa emikolo gye bategese ku mukutu ogunaabaweebwa ACALAN, basobole okumanyibwa n’okuyambibwa mu nteekateeka zaabwe. Emikolo gikyayinza okuba nga giri ku nnimi ennansi n’endiisa y’abaana olw’okutumbula ebyenjigiriza, ku nnimi ennansi n’okukumga abantu okulwanyisa enjala nga balima emmere emala, oba ku nnimi ennansi n’okutumbula ebyenfuna okuyita mu mmere ennansi. 

Basobola okutegeka ennyimba ezikunga abantu mu Afirika okulima emmere, emisomo ku nnimi n’ebyendiisa y’abaana, okutegeka empaka z’okusoma mu nnimi ennansi, okukunga abantu okulima emmere nga bayita mu mikutu gy’amawulire, okutegeka ebivvulu n’ebijjulo ku mulamwa ogwo n’ekigendererwa eky’okwagazisa abantu ennimi zaabwe, okujjumbira okulima emmere emala n’okwekulaakulanya oba emikolo egy’engeri endala yonna kasita giba nga gituukira ku mulamwa n’ebigendererwa bya wiiki. Emikolo gikyayinza okutegekwa n’ekigendererwa eky’okusomesa abantu, okubakunga okulima emmere n’okujjumbira endiisa ennungi, oba eky’okusonda n’okufunamu ssente okutumbula ennimi n’ebyobulimi, oba egy’engeri endala yonna ggwe nga bw’oba olabye.

Omu ku bakugu ba ACALAN ab’ennimi ennansi mu Afirika, Polof Marcel Diki Kidiri, munnakakiiko ka ACALAN ak’ekikugu akamanyiddwa nga  “Assembly of Academicians” yasabye abantu mu Afirika okutegeka emikolo n’emisomo eginaatumbula okusoma ebitabo ebiwandiike mu nnimi ennansi era n’okubyagazisa abantu. 

Akakiiko akateesiteesi aka wiki y’ennimi za Afirika ennansi kaliko bannakakiiko 25 okuli:

 

01

Mrs Margaret Nankinga

Uganda

02

Dr Tiga Alain Ouedraogo

Burkina Faso

03

MrsNénéGuèye

Senegal

04

Mr John Rusimbi

Rwanda

05

M. Anicet ALLAMADJINGAYE

Mali

06

Monsieur BOUKHENOUFA Tahar

Algeria

07

Prof. Bouchra  Bouklata

Morocco

08

Mr Hamisi Babusa

Kenya

09

MrsWigdan Mekki

France

10

Rosyna Mapendo

D.R. Congo

11

MrsMmaserame David

Botswana

12

Dr Sibongile Masuku

South Africa

13

Mr Prince Cletus Ilobanafor

Nigeria

14

Ms Francina Nutifafa Feyi

Ghana

15

MrMamudou Trawally

Gambia

16

DrEyasu Hailu Tamene

Ethiopia

17

Mr Yaya Coami Achille

Benin

18

General Ishola Williams

Nigeria

19

Maurin Jonathan MOBASSI dit Djoson Philosophe

Rep of Congo

22

Mr Karamo Jammeh

Sweden

23

Prof. Anita Marie Diop

Detroit, Michigan USA

24

MrMijiyawaMekano

Togo

25

Dr June Bam Hutchinson

South Africa

AFRICAN LANGUAGES WEEK, JANUARY 24-30, 2023

REGISTER YOUR EVENT

Omwana muyigirize olulimi lwe

Abaana banyumirwa nnyo nga bazannyira mu nnimi zaabwe

ABANTU BUKADDE ABAMMIDDWA EDDEMBE LYABWE OKUSIGAZA N'OKUNYUMIRWA ENNIMI ZAABWE

‘MU nsi ya leero eringa ekyalo ekimu, obusobozi okwogera ennimi eziwera n’owuliziganya n’abantu aboogera ennimi ez’enjawulo bukugu obwetaagisa buli muntu. N’okumanyaako ekitono ku nnimi ezisukka mu lumu kiyamba.

Okumanya ennimi endala bwe buyigirize obupya obuliwo mu nsi kati. Okuyiga ennimi kwetaaga okugaziyizibwa eri bonna- abakulu n’abato. Kyokka, abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna abammiddwa eddembe lyabwe okusigaza, okunyumirwa n’okukulaakulanya ennimi zaabwe enzaaliranwa era ezibagattira awamu.” (https://www.salzburgglobal.org/fileadmin/user_upload/Documents/2010-2019/2017/Session_586/SalzburgGlobal_Statement_586_-_Multilingual_World__combined_.pdf

Leero nga tujaguza wiki y’Ennimi Enfirika, ebiri mu kiwandiiko ekyo waggulu, ebyafulumizibwa bannannimi mu Salzburg, eby’abantu okummibwa eddembe lyabwe okusigaza, okunyumirwa, n’okukulaakulanya  ennimi zaabwe enzaaliranwa bikyagenda mu maaso.  Abakola kino bantu ba buyinza era ba buvunaanyizibwa nga n’ebintu ebikulu biri bibiri bye batera okwerimbikamu nga bakola kino:

(1) Okugatta abantu olwo ne bagamba nti buli muntu bw’anaweebwa ebbeetu okwogera olulimi lwe n’okulukulaakulanya kijja kutema mu bantu.

(2) Omugaso gw’ennimi zino bangi tebagulaba nga batuuka n’okubuuza nti , zigenda kukuteera mmere ku ssowaani yo?  Kye baba bategeeza nti zirina mugaso ki mu nfuna yo?

Olwaleero  kanziremu abalina endowooza zino zombi:

(1) Okugatta abantu okuyita mu nnimi ezitegeerwa abantu abangi

Kino kikulu nnyo  mu nsi gye tubeeramu ennaku zino nti buli muntu yeetaaga  munne era bw’oba oyagala okuwuliziganya n’abantu abawerako weetaaga ennimi mugattabantu nga zino ziri ku mitendera egy’enjawulo. Waliwo ezitugatta ku kyalo, mu kitundu ekineneko nga  essaza, disitulikiti, nga eggwanga ate n’ezigatta  eggwanga nga Uganda ku mawanga  amalala n’ensi yonna okutwalira awamu.  Mu biti ebyo byonna bye mmenye, ennimi ezitugatta nkulu ddala. Omuntu mu buntu bwe amanya ddi lw’alina okukozesa lulimi ki era ng’ayogera eri baani. Kino tekimuggyaako ddembe lye kwogera lulimi lwe ne bantu banne abalutegeera era n’okuluyitamu okwefumiitiriza ku bimuzimba n’okumutwala mu maaso. Tekitegeeza nti bw’anaayiga n’akulaakulanya olulimi lwe ng’endala azivaako, nedda. Mu kuyiga olulimi lwe amanya obukulu bw’ennimi mu mpuliziganya era afuba okuyiga zonna z’asobola era n’okuzoogerera we zeetaagisiza kubanga kimuwa n’omukisa okuzigeraageranya  n’olulwe.

Abanoonyereza baakizuula nti omuntu bw'ayiga olulimi lwe lumuyamba okuyiga ennimi endala nnyingi.

(2) Zisobola okussa emmere ku ssowaani yo?/ Ziyinza okukuyamba mu byenfuna?

Ababuuza ekibuuzo kino beerabira obukulu bw’ennimi enzaaliranwa  mu kuyiga kw’omuntu n’okumuyamba okufumiitiriza.

Abanoonyereza bazze bakyogera lunye nti omwana ayize obulungi olulimi lwe w’atuukira okugenda mu ssomero, ayanguyirwa nnyo okusoma bwino n’okuwandiika, ekitegeeza nti  olulimi lwo lukuyamba okuyiga okusoma bwino n’okuwandiika ebikuyamba ennyo mu bukugu bwonna bwe weetaaga  okunyweza ebyenfuna n’ennyingiza  ne bw’oba oli mulimi oba mukugu mu byamateeka oba munnabyabufuzi.

Mu Luganda tugamba nti okumanya n’okutegeera biba byawufu ate tulina okufumiitiriza, okwefumiitiriza. Olulimi lw’omuntu lwogerwako nga etterekero ly’ebyobuwangwa bwe ate ebyobuwangwa bizimbirwa ku bintu ebitwetoolodde  nga bano be bantu bannaffe n’obutonde bw’ensi. Bwe tubyekenneenya okumala ebbanga era ne tubitegeera obulungi olwo ne tubizimbako empisa, obulombolombo n’oluganda nga bino byonna bye bikola kye tuyita ebyobuwangwa. Ebyenfuna  nabyo obizimbira ku bikwetoolodde ng’olaba bw’oyinza okubikozesa okukugasa ng’obiggyamu ekyokulya, ensimbi n’obuwummuliro. Ky’ova olaba nti ennimi zaffe  eziterese ebyobuwangwa byaffe  ebitunnyonnyola obutonde obutwetoolodde ne bwe tuyinza okubukozesa, bwe tuzisuula ettale nga n’ekyokulya n’ebyenfuna tubyerabira. Ky’ova olaba nti leero tulowooza nti obugagga buli Bulaaya kubanga  ebitunnyonnyola obugagga obutwetoolodde ne bwe tuyinza okubukozesa biri mu buwangwa bwaffe naye tetubitegeera kubanga ennimi ezibinnyonnyola ezaffe enzaaliranwa nazo tetuzitegeera. Wano we tuva okulowooza nti ennimi engwira ze zokka ezisobola okutussizza emmere ku masowaani ne tulya (okutuwa ebyobugagga) kubanga tulowooza nti tutegeera  nnyo ebyobuwagwa n’obutonde obuli mu nsi engwira nga Bungereza Amerika kati ne China okusinga  obwaffe mu bitundu mwe tuli.

Bnnaffe kye bava tebatawaana naffe ne bajja ne batuggyako  obugagga bwe tulaba bulijjo kyokka nga tetubumanyi ne babutwala ewaabwe ne babufuuwako enfuufu olwo ne babukomyawo nga eddagala, emmere, ebyokulya n’okunywa olwo ne tuyaayaana nnyo nga tulowooza obugagga buli waabwe kyokka nga tubulese wano ewaffe.

Ennimi ezitugatta era ezitegeerwa abantu abangi nkulu nnyo era tuziyige wonna we tuzisanga naye ekinaatuggya mu bwavu era kye tunaatwala ku katale k’ensi yonna okukitunda eri  ensi ezo endala nga tweyambisa ennimi zaabwe ze tuyize obulungi era ze tufuuuwa obufuuyi kiri mu butonde obutwetoolodde mu buwangwa bwaffe nga kiterekeddwa mu nnimi zaffe.

Mbaagaliza weeiki y’Ennimi Enfirika ey’essanyu.

(Margaret Nankinga).

JOYCE N. TOMUSANGE

EKITONTOME 

Mu bulamu bwange nze njagala akaleesu.

Bwe nzuukuka ku makya ,

Nga nneesuulako akaleesu,  nnyingire ekinaabiro  .

Bwe mmala okunaaba nneesuulako   akaleesu .

Okugenda okuzuukusa abaana nneesulako akaleesu. 

Bwe mbeera mu ffumbiro era nga nnina akaleesu.

Okwewonya evvu n'enfuufu  omutwe nguzingako kaleesu.

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

Kyayi mu luganda

19.10 | 20:14

Latest comments

OBULAMU BW'OMUKAZI AWAMU N'AKALEESU

Add headline

I'm a paragraph. Click here to add your own text and edit me. I'm a great place for you to tell your story and let your visitors know a little more about you.

 

Bwe mba ku kibi era sireka kaleesu.

Okwekuuma mu nsonga z'abakazi mbeera n'akaleesu.

Abazadde b'abaana baweekesa obuleesu. 

Mu kujoogebwa okunji obeera n'akaleesu.

Omusajja bw'akuvuma okaabira mu leesu.

By'oyasimula ennyo ennyo okozesa kaleesu.

Eminyira n'amaziga obisanguza kaleesu.

 

Abafumbi mu mikolo babeera n'obulesu. 

Mu malwaliro abakazi bagenda n'obuleesu.

Abasaala bonna nno baba n'obuleesu.

Gendako e Bbombo wano olabe obuleesu!

Abasaabaze abakazi beesuulako obuleesu ,

Ne batasunwa byuma  ne bisuna buleesu.

Wadde nga waliyo bingi ebikozesebwa leesu,  

ku luno kankome kw'ebyo ,

Ate ndidda n'ebibi ebingi bye bakozesa leesu

 

 

 

 

Omwana bw'ayigira mu lulimi lwe kimuwa essanyu